Poliisi y'ebidduka etaddewo ennamba z'amasimu eri abo abalina okwemulugunya ku pipapula { EPS} ebyabakubibwa ku mmotoka zaabwe.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agambye nti oli bw'abeera tasobodde kukuba ku nnamba 0772 694901 oba 0789712210, asobola okugenda mu kasenge ka 72 e Nateete ne yeekubira enduulu.
Alabudde abantu abagula mmotoka nga kuliko ebipapula bino, nti si baakubasonyiwa era balina okusooka okwetegereza nga tebannazisasula.
Mu ngeri y'emu era Kananura, ategeezezza nti ebikwekweto bikawunyemu bikyagenda mu maaso nga mu wiiki bbiri, bakutte baddereeva 216.
Ayongeddeko nti n'ebikwekweto ebirala bikolebwa okulwanyisa obubenje ku nguudo