Amawulire

Omu ku bagambibwa okutigomya abantu ku Northern Bypass akubiddwa amasasi n'afiirawo

Omu ku bavubuka abeebijambiya abagambibwa okutigomya abasaabaze n'abaasuubuzi ku luguudo lwa Northern by pass, bamukubidde amasasi mu kitoogo ng'abaserikale  bamugoba .

Omu ku bagambibwa okutigomya abantu ku Northern Bypass akubiddwa amasasi n'afiirawo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omu ku bavubuka abeebijambiya abagambibwa okutigomya abasaabaze n'abaasuubuzi ku luguudo lwa Northern by pass, bamukubidde amasasi mu kitoogo ng'abaserikale  bamugoba .

 

Kino kiddiridde abavubuka abeebijambiya okufumbiikiriza omuyizi omuwala owa yunivaasite ya Metropolitan  okumpi n'oluguudo lwa Ntebe Expressway we lutandikira okuva ku Northern by pass ekiro, ne bamunyagako essimu bwe yabadde atambulira ku bodaboda.

 

Kigambibwa nti yakubye enduulu era abaserikale abaabaddewo ne bagoba ababbi abaayingidde ekitoogo nti kwe kwagala okutema omuserikale n'amukuba amasasi agaamusse.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti okunoonyereza kukolebwa era tannamanyika bimukwatako.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Northern Bypass
Kukubwa
Masasi
Kutigomya
Bantu