POLIISI y'e Nakasongola ekutte abantu bana bagiyambeko okubuuliriza ku kufa kw'omukuumi ku ffaamu emu ku kyalo Kikuute mu ggombolola y'e Lwabyata mu disitulikiti ya Nakasongola gwe baakwakuddeko emmundu ne bamukuba amasasi agaamuviiriddeko okufa.
Tonny Innocent Okot 27, ng'abadde mukuumi mu kkampuni ya Axis Warriors Ltd ye yafudde ng'addusibwa mu ddwaliro e Nakasongola okufuna obujjanjabi.
Kino kyaddiridde ebbiina ly'abatuuze lye yabadde agobaganya ku ffaamu y'omugenzi Mafende gy’abadde akuuma okumwefumbako.
Kigambibwa nti bino byabaddewo ku ssaawa 9:00 ez'ekiro ebbiina ly'abatuuze abasukka mu 25 ababadde babagalidde amatooki, obutimba, ebiso n'amafumu bwe bazze mu ffaamu eno ne batandika okuvuba emmale.
Omwogezi wa poliisi, mu Savanna ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti omu ku bakuuma ffaamu eno ayitibwa Safari ye yalabye abantu bano nga beesogga ffaamu n'ategeeza bakama be.
Yaweereddwa ebiragiro okwegatta ku banne basatu abaakuuma ffaamu eno omwabadde Francis Oryem, Patrick Ojera n'omugenzi Innocent Tonny Okot okugoba n'okukwata abantu bano.
Baakutteko bana abalala ne badduka kyokka nga babasuuzizza amafumu, emmale, ttooki n'ebirala.
Wabula nti Okot eyabadde n'emmundu eyabaddemu amasasi ataano yasigadde agoba abaabadde badduse ekyaddiridde banne kuwulira kubwatuka kwa masasi ne Okot ng'alaajana nti akubiddwa amasasi.
Baamusanze aboyaana kyokka ng'emmundu ye tagirina ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro e Nakasongola gye yafiiridde.
Twineamazima yategeezezza nti poliisi ng'eri n'abakuumi baakoze omuyiggo ne bazuula emmundu ng'esigaddemu amasasi abiri.
Yagambye nti bawenja abadduse ate abaakwatiddwa bagenda kuggulwako gwa kubbisa lyanyi n'obutemu.