Amawulire

Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki bakwatiddwa

Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo, bakwatiddwa mu Kampala ne Mukono.

Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo, bakwatiddwa mu Kampala ne Mukono.

 

Mu kikwekweto, era poliisi ezudde pikipiki nga ttaano ezigambibwa okuba enzibe nga n'ezimu bazinoonyeza katale.

 

Emmanuel Kyeyune bamukwatidde ku lubiri mu Kampala ne pikipiki nnamba UMA 222C W, bakutte ne Godfrey Tumusiime.

 

Abalala abakwatiddwa, kuliko Eriabu Kuribimaana bw'asangiddwa mu Wansaso ng'atunda pikipiki nnamba UMA 057HX egambibwa okuba enzibe. Ate era John Bosco Kaggwa ow'e Kabimbiri naye akwatiddwa nga kigambibwa nti abadde atunda pikipiki nnamba UFN 425 J.

 

Ye Pius Galaba owa Aldina Road e Jinja naye bamukwatidde ku Guest House emu mu Kampala ne pikipiki nnamba UFK 479 Z ebadde yabbiddwa okuva e Jinja.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti mu kitundu kya Wansaso bongeddeyo bambega okukwata ababbi abazitwalayo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Poliisi
Piki piki
Kukwata
Mukono