Abantu 20 abagambibwa okukasuka amayinja n'okukola effujjo ku bakungubazi mu kuziika eyali omubaka wa palamenti mu Busiro South, Charles Matovu, bakwatiddwa.
Byabadde mu kuziika e Nkungulutale e Ntebe mu Wakiso, ekibinja ky'abavubuka bwe kyakoze efujjo ku bakungubazi n'abamu ne babuna emiwabo naddala ab'ekibiina kya NRM.
Kigambibwa nti omu ku baalumiziddwa ye mmemba wa palamenti e Kibuku Herbert Kinobero ne baggyamu n'omukka mu mupiira gw'emmotoka ye.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti bano, baakutwalibwa mu kkooti, bavunaanibwe.