Amawulire

Omusirikale eyali mu gwa Kayanja awuniikirizza kkooti

OMUSERIKALE eyakola okunoonyereza mu gw’okulebula omusumba w’e Kkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Pr. Robert Kayanja azze mu kkooti n’akkaatiriza ng’amawulire abawawaabirwa ge baamuwa nti baali bakolebwako eby’ekikukujju gaali ga bulimba n’abassaako ogw’okumuwa amawulire amakyamu.

Abavunaanibwa nga bali mu kaguli ka kkooti
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

OMUSERIKALE eyakola okunoonyereza mu gw’okulebula omusumba w’e Kkanisa ya Miracle Centre Cathedral e Lubaga, Pr. Robert Kayanja azze mu kkooti n’akkaatiriza ng’amawulire abawawaabirwa ge baamuwa nti baali bakolebwako eby’ekikukujju gaali ga bulimba n’abassaako ogw’okumuwa amawulire amakyamu.

D/IP Clotilda Nandutu omuserikale okuva mu kitundu kya Poliisi y’obukiika kkono, (KMP North) ng’akulembeddwamu omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya y’awadde obujuli mu kkooti y’omulamuzi Adams Byarugaba eya Nateete Lubaga e Mengo n’agamba nti ebyazuulibwa ng’abavubuka bakebereddwa byali tebibamatiza kussa musango ku Pr. Kayanja nti yali abakabasanya.

Yategeezezza nti nga September 21, 2021, bwe yali ku mirimu gye, yafuna essimu nti ku Poliisi ya Kampalamukadde waliwo abavubuka mwenda abaali bagamba nti omusumba Kayanja yabakolako ebikolwa by’ekikukujju era okunoonyereza ne kutandika okuzuula ekituufu.

Yagambye nti ku poliisi kwajjirako Israel Wasswa n’abalala ebeefuula nti balooya b’abakwate era Wasswa yasigala abalondoola nga n’amasimu agamukubira okumubuuza wa okunoonyereza we kutuuse.

Yategeezezza nti, baasookera Mulago, ebyazuulibwa nga bonna balamu ddala olwo Omuwaabi wa Gavumenti n’ayita ffayiro okubawabula era bassibwako gwa kusaalimba kyokka n’alagira bano okuddamu okukeberebwa kwe ku batwala mu ddwaliro lya Poliisi e Nsambya era nga balamu.

Omuserikale annyonnyola nti oluvvanyuma baafuna olukusa lw’okukebera amasimu gaabwe okwali eya Reagan Ssentongo ng’anyumya ne Kayanja, agamba nti ono yatandika asaba ssente z’okuyamba ku bazadde abalwadde kyokka ate obubaka n’abukyusa nti amuwe ssente ze yamukabasanyizanga naye n’akomekkereza nga yeetonda.

Yagambye nti obujulizi obwo bwamulaga nti bano baali bajweteka bigambo ku muntu kwe kubaggulako egy’okwogera kalebule n’okusaalimba.

Ono teyabuuziddwa bibuuzo ludda luwawaabirwa olw’obudde era ne gwongezebwayo okutuusa nga July 15, 2024.

Abawawabirwa mwenda Moses Ssemanobe, Alex Wakamala, Martins Kagolo, Aggrey Kanene, Peter Sserugo, Reagan Ssentongo, Labeeb Kalifah, Israel Wasswa ne Jamir Mwada kigambibwa beekobaana ne balumba kkanisa ya Kayanja nga September 17, 2021 ne bamwogerako kalebule nti yabatusaako ebikolwa by’ekikukujju ne bakwatibwa kati gwe bawerennemba nagwo

Tags: