MINISITA wa Kampala Hajat Minsa Kabanda, asabye abantu okuteeka obuyiiya mu mirimu gyebakola, bagikwate bulungi, n’okukwata obulungi ba kasitooma emirimu gyabwe gisobole okukula amangu.

Minisita Minsa Kabanda nga bamunnyonnyola
Bino Hajat Kabanda abyogedde bw’abadde akyaddeko ku mudaala gwa Ibra Star Irish Depot e Wankulukuku ogw’omuvubuka Ibra Ssenabulya, okulaba oba guli ku mutindo ogusaanidde, olutuuseewo n’amusiima bya nsusso n’amugumya nti, okusinziira ku ntegeka y’omudaala gwe ogwenkana akatale, ate nga guli ku mutindo omulungi, tali mu lukalala lw’abagenda okugobebwa ku makubo kuba yaaguteekateeka bulungi omuli n’okuwa abavubuka abawera emirimu.
Yeebazizza Ssenabulya olw’okutegeka obulungi omulimu gwe, naamusaba okugwongerako omutindo, atandike okwerimira ebintu byatunda abeere ng’abiggya mu nnimiro ze, ebibala byatunda omuli enyaanya okubyongerako omutindo ng’okukolamu tomato sause bireme okumwonoonekako kuba abisuubula mu bungi ayongere okuganyulwa.

Omudaala gw'ebirime
Naasaba abantu okutwala eky’okulabirako kya Ssenabulya, bulijjo okwagala emirimu gyabwe ate bagifeeko gibeere egy’omutindo ng’omudaala gwa Ibra Star Irish Depot gw’agambye nti, gutunda ebintu eby’omutindo ate alina olulimi olulungi olusikiriza abaguzi.
Namusaba obutakyusa, nti kubanga oluusi akyama ku mudaala guno okugulako ebintu, naye nga yaasikirizibwa olulimi kasenda baguzi olukozesebwa ate nga buli ekyetaagisa mu bulamu bwa bulijjo baakirina.
Ye Ssenabulya attotoledde minisita Kabanda okusomoozebwa kwayitamu omuli; ebintu byatunda okwonooneka amangu ate n’entambula ebiggya mu nnimiro okubituusa mu kibuga oluusi ekaluba, n’amusaba bwewabaawo enteekateka ya gavumenti bamudduukirireyo n’entambula y’emmotoka ya FUSO ebayambengako ku ntambuza y’ebintu, kuba akutte ku bavubuka bangi baawadde emirimu, nga kati akozesa abasoba mu 70 baakyusizza obulamu.

omutaka Mutesaasira Tendo Keeya Namuyimba II omukulu wwekika kye Ngo
Ng’abamu amakanisa gegabaleeta ate abalala baali ba kunguudo, naye abasinga bavubuka ba kitundu, bbo abakyali abato ababudaabuda n’abazzaayo ku masomero nebasoma ng’abaweerera ate nga bwebakola mu luwummula.
Minisita Kabanda asanyukidde ekya Ssenabulya okukwata ku bantu abatalina mwasirizi, naddala abavubuka mu kiseeera kino nga bagobwa ku nguudo, naamusaba okugaziya akatale asobole okutwala abavubuka abawerako abagobwa ku nguudo nga tebalina webalaga.
Amusuubizza nti, minisitule ya Kampala gy’atwala ne ofiisi ya RDC w’e Lubaga bagenda kumukwatirako okulaba ng’atuukiriza ebyetaagisa okwongera mu mudaala guno ayongere okukwata ku bulamu bw’abavubuka bangi, nti ate ne minisitule yeby’obulimi erina enteekateeka nyingi eziyamba abalimi, nayo bajja kumukwatirako.

munnakatemba Sam Bagenda
Omutaka Mutesaasira Tendo Keeya Namuyimba II akulira ekika ky’eEngo, naye abaddewo ku lwa muzzukulu we Ssenabulya, gw’asiimye okuwa bazzukulu be ab’ekika ky’engo emirimu mu bungi, naasaba minisita Kabanda, bwewabaayo ekyetaagisa kyonna okuyamba Ssenabulya okugaziwa bakimuyambemu kubanga akutte abavubuka bangi ku mikono ate kya kulabirako kirungi eri bavubuka banne.