Amawulire

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda Joseph Mukasa Ssaava asabye abavubuka okukoya omuze gw'obukyayi eri bannaabwe

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda Joseph Mukasa Ssaava asabye abavubuka okukoya omuze gw'obukyayi eri bannaabwe 

Joseph Ssaava ng'annyonnyola ku bukulu bw'okwewala obukyayi
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

OMUBAKA wa Pulezidenti Museveni ow’enjawulo ku nsonga za Buganda, Ying. Joseph Saava Mukasa asabye abavubuka okukomya omuze okwolesanga obukyaayi, obutaagaliza ate n’okusagambizanga ng’abantu bafunye obuzibu.

 Ying. Mukasa agambye nti ng’ensi ekuza olunaku lw’okutambuza ekkubo ly’omusalaba, abavubuka basaanye okulukozesa okwekuba mu kifuba okukomya emizze egyo kubanga tegirina gyegibatwala.

Okusaba bwati asinzidde ku kisaawe kya Old Kampala SS e Kampalamukadde mu Kampala awadde omukolo omukulu gw’okutambuza ekkubo ly’omusalaba ogukwatibwa abakristo abakiririza mu Yesu nga bajjukira okikolwa ky’okukomererwa kwa Yesu ku musalaba.

“Obukyayi buyitiridde mu bantu, okuvumagana kwegamba buli omu akola kyayagala olw’emirembe egiyitiridde. Njagala okukubiriza abavubuka tukomye obukyaayi, obutaagaliza, abantu okufuna ebizibu netusagambiza. Olwa leero luyinza kuba lwange ate enkya luyinza okuba olulwo,” Ying. Saava Mukasa bwasabye.

Ying. Saava Mukasa ng'ali ne Fr. Anthony Musaala

Ying. Saava Mukasa ng'ali ne Fr. Anthony Musaala

Ebigambo bino Ying. Ssaava Mukasa agambye nti ebigambo ebyo biyitiridde naddala ku mitimbagano gya yintaneti ng'ate bandibadde bagikozesa mu bintu ebibatwala mu maaso okusinga okusigirako ensigo y'obukyaayi.

Ying. Saava Mukasa agenze mu maaso n’asaba okweggyamu olwo bade mu kwolesa n’okutambulira mu mutima ogw’okwagalana n’okusonyiwagana eri buli omu.

Mu kutambuza ekkubo ly’omusalaba ono atambudde ne Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere okuva ku Lutikko e Lubaga okutuuka ku kisaawe kya Old Kampala SS okwegatta ku bakkiriza abalala okwejjukanya ebyo Yesu byeyayitamu ng’akomererwa ku musalaba nga beetegekera okujjaguza amazuukira ga Yesu ku lwa Ssande nga April 5,2026.

Tags: