PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni atongozza okulima emwaanyi mu ggwanga n'asaba abakulembeze benzikiriza okusigala nga bakolere wamu ne Gavumenti kwosa n'abakulembeze ba district okugenda mu maaso nga babunyisa enjiri ya bonna bagaggawale
Bino bibadde mu bubaka bwe bwatise omumyuuka we Jessica Alupo ku mukolo ogubadde Ku kisaawe kye Ggombolora ya Rwamucucu mu district ye Rukiga.

Omumyuka wa Pulezidenti Jesca Alupo ng'atuuka ku mukolo gw'okutongoza emmwanyi mu Rukiga
Pulezidenti agamba nti abantu bwebannajjumbira enkola eno ey'okubunyisa engiri eno kijja kuyambako abantu okusobola okukola ennyo n'okwettanira enteekateeka za Gavumenti okweggya mu bwavu olwo kiyambeko Gavumenti okutuukiriza ebiruubirirwa byayo.
Bbo abalimi nga bali wamu ne Ssentebe waabwe owa district Robart Mbabazi bamulopedde ku bimu ebibasomooza omuli enguuddo embi nga kwotadde n'omuwendo gwe bintu omutono ogubawebwa Gavumenti ne birala
Wano Vice president Jassca Alupa abagumiza ng'ensonga zaabwe bwagenda okuzituusa ow'omukulembeze w'eggwanga.

Omumyuka wa Pulezidenti Jesca Alupo ng'ali ku mukjolo gw'okutongoza okulima emmwanyi mu District ye Rukiga
Ye Hajjati Aminah Mukalazi akulira offiisi ya Local content Unit nga y'omu ku bali munteekateeka eno agambye nti basazeewo okutongoza enteekateeka eno mu district eno nti abantu beeno balimi ba bummonde nnyo nti baagadde bakyuseemu balime ne ku mwaanyi.
Era agambye nti enteekateeka eno egenda kwetoloola eggwanga lyona nti era bagenda kugenda mu maaso n'okugigoberera
Bano basoose basoose kubasomesa ku Ku nnima y'emmwanyi era oluvannyuma lw'okutongaza abalimi baweereddwa ensigo ezisobye mu mitwalo omusanvu (70000)nga entandikwa.