Nnankulu w’ettendekero eribangula abeenyigira mu mirimu gya banka ekya Uganda Institute of Banking and Financial Services, Goretti Masadde akubirizza abakyala bannayinsuwa okulaba nti batuulirira n’okuyitimusa bannabwe mu byalo nabo okuganyulwa mu buweereza bwa yinsuwa mu ggwanga basobole nabo okwekulaakulanya.
Agambye nti obwetaavu n’okusoomooza okutuukiriza kino bukyali bunene ng’ekisinga kwe kutandika okuzibikira ekituli by’obutamanya ku nsonga zino nga beeyambisa amakubo amampya okugeza yinsuwa z’obulimi kubanga bangi mu byalo okulima kwe kubayimirizzaawo.

Abakyala ba insurance nga bakuza olunaku lwabwe
Bino abyogedde bw’abadde omugenyi omukulu ku mukolo abakyala bannayinsuwa abeegattira mu kibiina kya ‘Women In Insurance’ (WIN) bwe babadde bajaguza olunaku lw’ensi yonna olw’abakyala lwe baakulizza ku ttendekero ly’emirimu gya yinsuwa erya Insurance Training College (ITC) e Bukoto ku Lwokutaano nga April 2.
Masadde yategeezezza aba WIN nti basaanye okukwata bannaabwe ku mikono ate n’asaba abasajja okuwagira entekateeka zaabwe.
“Abakyala abaawaka, abalimi n’abeekola mu butale muyayingize mu yinsuwa. Abakyala bakozi ate beesigwa. Okwenyigira mu bintu nga yinsuwa ge gamu ku makubo agajja okulinnyisa eby’enfuna ya Uganda okuva ku buwuumbi 50 okutuuka ku 500 mu bbanga ssi ddene,” Masadde bwe yalambise.
Wabula yasoomoozezza abakyala abalina we batuuse okutabeera ku bukiiko kujjuza muwendo ng’amateeka g’ensi yonna bwe galambika nti bateekeddwa wabula babeereko ebiteeso eby’essimba bye baleeta okukyusa eggwanga era n’asiima aba WIN kubanga bakoze kinene.

Abakyala ba insurance nga bakuza olunaku lwabwe
Ye ssenkulu w’ettendekewo lya Insurance Training Center (ITC), Saul Sseremba yasoomoozezza abakyala nti basaanye okubeera abavumu mu buli kye bakola beekulakulanya n’okukwata bannabwe ku mikono n’ayongerako nti enkulakulana n’obwa ntalobunani tebikwatagana.
“Mukola ebitundu 60 ku buli 100 ku basajja mu nsi yonna naye ku bukulembeze osangayo omu oba babiri bokka ku ntikko.
Mukozese obuvumu Katonda bwe yabawa mweggulirewo enzigi. Mweyambise omukisa gwa tekinologiya okutuukana n’okuyita ku basajja kubanga amagezi ga tekinologiya tegasosola oba mukazi oba musajja,” Sseremba bwe yalambise.
Yabakubirizza n’okwongera okunnyonyola abasajja ate nabo babeere n’obuvunaanyizibwa okukolagana n’abalyala bakulaakulane.
Omukolo guno gwatambulidde ku mulamwa nti ‘Okutumbula omukyala kwe kutumbula yinsuwa’.
Omumyuka wa nnantebe wa WIN, Evelyn Nkalubo yalambise bye batuuseeko mu myaka mukaaga bulya kitandikibwawo nga 2025 gwabadde gwa nkizo.

Abakayala ba insurance nga babagabudde ekijjulo
“Tukyalidde n’okuyamba abakyala abazaala mu ddwaliro e Kawempe, tugguddewo amatabi 33 mu bitongole ebitali bimu okukola ebibiina by’abakyala okuyingira mu yinsuwa ate n’okugenda mu misomo egitali gimu mu mawanga ag’ebweru,” bwe yategeezezza.
Ye nnantebe era okutandisi w’ekibiina kya WIN, Hajati Aphwa Ssebyala yasiimye abakyala naddala abapya abeegasse ku kibiina kino n’asaba n’abalala bangi okusingawo nga beegatta ku kya Africa Insurance Women Association (AIWA).
Yasiimye amakampuni gonna agaatadde ensimbi mu mukolo guno.
“Olunaku lw’abakyala tulukuzizza nga omwezi gwa March guweddeko olw’emikolo emingi ba mmemba gye babaddemu. Tusuubira okwongera okugaziya empereza era mwegegekere okulonda abakulembeze abaggya omwaka guno,” Sebyala bwe yategeezezza.
Yasiimye bonna abaayigirizza abakyala n’okubalaga amakubo ge bayiseemu okutuuka ku ndikko okuli Francesca Kakooza, Angela Dragu, Julius Sembuya ne Tadewo Nsubuga.
Yakubirizza abakyala okusiimba emiti era n’akwasa abaasinze bannabwe okwambala endokwa z’emiri egy’embala nga bonna baagabuddwa ekijjulo.