Ng’ogumu ku mikolo egikolebwa mu Eklezia Katolika, mu Wiiki Entukuvu, Abasaserdooti, Abadyankoni, Bannaddiini n’Abakristu okuva mu bigo byonna ebikola essaza ekkulu ery’e Kampala, baakungaanidde mu Lutikko e Lubaga, ku Lwokuna Olutukuvu, okwetaba mu mmisa ya Kulisima.
Abamu ku Baseserodooti abeetabye mu mmisa
Mmisa eno esomebwa olw’okujjukira olunaku Yezu Kristu lweyassaawo Essakramentu lya Ordiini (eriweebwa Abasaserdooti n’Abadyankoni), n’Essakramentu lya Ukaristia. Mu mmisa eno era Omwepiskoopi mw’atukuliza omuzigo ogukozesebwa mubulamu obw’Amasakramentu.

Abaseminaario nga batwalayo omuzigo okutukuzibwa
Missa y’akulembeddwamu Ssabasumba Paulo Ssemogerere ng’ali wamu n’e Ssabasumba Augustine Kasujja (Omubaka wa Paapa), n’Abasaserdooti abaasobye mu 400.

Abamu ku Bakristu abeetabye mu mmisa
Bweyabadde ayigiriza, Ssabasumba Ssemogerere yeebazizza Abasaserdooti olw’enkolagana ennungi gyebalina naye, eyambye emirimo gy’Omukama okutambula obulungi, n’abasaba bagyitwale mu maaso. Y’abasabye era bakolagane bulungi ne Basaserdooti bannaabwe.
Mu mmisa eno, Ssabasumba y’awadde omukisa omuzigo ogw’Abalonde, omuzigo ogw’Abalwadde, era n’atukuza n’Omuzigo ogwa Kulisima, ogunaakozesebwa mubulamu obw’Amasakramentu, omwaka guno.

Abeseminario be Ggaba nga bayimba mu mmisa
Ssabasumba y’atuusizza n’obubaka Paapa bweyatisse Abepiskoopi ba Uganda, jjuuzi luno lwebaamukyaalidde, n’ategeeza nti y’abakubirizza okukolerera emirembe, n’okussa munkola okukkiriza okungi kwebalina, mu bigambo n’emubikolwa byabwe.

Ssabasumba ng'ali n'abaseminario ab'esimbyewo, ne bazadde baabwe
Mu mmisa eno y’emu, Ssabasumba y’asabidde Abaseminario 6, abeesowoddeyo nebeeraga eri ekibiina ky’Abkkiriza ngabwebamaliridde okulinnyisibwa ku ddaala ly’Obudyankoni, Katonda bw’anaaba ayagadde.