OMUSAJJA eyalabikidde mu katambi ng’ababbi bamukuba ku Buganda Road attottodde ebyamutuusibwako n’embeera gy’alimu.
Abdullah Mugerwa, yategeezezza Bukedde nti bino byamutuusibwako mu 2022 ababbi bwe baamutaayiza bwe yali ne mukyala we nga bava ku Senana nga badda e Wandegeya.
Bino byaliwo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo. Yali aweese ensawo omwali kompyuta, ssente obukadde 30 essimu ekika kya Iphone 12 Pro Max. Agamba nti ababbi abaali bawera 17, baabeetooloola agenda okuwulira nga bamusambye ku mutwe. Wadde yatya naye yagenda okulaba nga abamuzinze bavubuka n’abeesimattulako, wabula ng’ensawo bagitutte.
Wakati yajjukira mukyala we gwe yali alese emabega kwe kuddayo okumutaasa, wabula ne bamukuba tteke eyamusuula ku ttaka ne bongera okumukuba. We yaviirawo nga okugulu okwa kkono kumenyese, era baamuyoolayoola baamutwala ku Case Hospital we baamuggya okumutwala e Mulago.
Yaggulawo omusango ku poliisi e Wandegeya oguli ku ffayiro nnamba SD/04/23/2/2022.
Baali ababbi 17 ne bakwatako abamu
Lipoota eyafulumiziddwa poliisi oluvannyuma lw’akatambi okusaasaanira ku mikutu egy’enjawulo eraga nti Mugerwa yabbibwako ssente obukadde 30 wabula nga ku babbi 17, poliisi yaakakwatako Abdullamani Bakata amanyiddwa nga Pancho, Emmanuel Nsubuga, Augustine Wanandya ne Ivan Muwanda.
Mu kiseera kino Mugerwa atambulira ku miggo, yaakalongoosebwa emirundi 4 mu ddwaaliro erimu e Ntebe nga baamulagira addeyo alongoosebwe omulundi ogwokutaano ne bamusaba obukadde 4 n’emitwalo 30 wabula zikyabuze