Abantu babiri ababadde babeera mu nnimiro, bafiiridde mu weema mwe babadde basula e Luweero.
Ekikangabwa, kibadde ku kyalo Kibiike mu muluka gw'e Bamugolodde mu ggombolola y'e Butuntumula e Luweero.
Abafudde kuliko Richard Sobya 36 ne Grace Nalubwama 43 nga bombi babadde balimi era nga batuuze ku kyalo Kyambogo mu muluka gw'e Kankinzi e Butuntumula.
Bano bombi, babadde baaluganda nga bakoola bijanjaalo ku yiika ssatu mu nnimiro ya muganda waabwe eyafa.
Babadde bassaawo weema mu nnimiro mwe babadde basula abasatu kyokka nga mukyala wa Sobya ye, yasobodde okusimattuka ne bamuddusa mu ddwaliro e Butuntumula okufuna obujjanjabi ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti, bano bandiba nga baafudde kiziyiro era nti emirambo gikyekebejjebwa.