Amawulire

Abadde alemesa poliisi okukwata owooluganda lwe bamukubye amasasi n'akalirawo!

Omuntu omu agambibwa okugezaako okulemesa abaserikale okutwala omusibe, akubiddwa amasasi agamusse e Bugiri.

Abadde alemesa poliisi okukwata owooluganda lwe bamukubye amasasi n'akalirawo!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuntu omu agambibwa okugezaako okulemesa abaserikale okutwala omusibe, akubiddwa amasasi agamusse e Bugiri.

Attiddwa, abadde tannategeerekeka bimukwatako kyokka ng'abadde mutuuze w'e Nambale mu ggombolola y'e Buwunga e Bugiri.

Kitegeezeddwa nti okumukuba amasasi, abaserikale babadde bagenzeeyo leero, okukwata Nasiru Mugoya ku misango gy'okulumya omuntu era nti babadde bagezaako okumutwala, abooluganda lwe ne bagezaako okulemesa poliisi era wano mu kuwaguza, kwe kukubako omu amasasi agamuttiddewo.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti poliisi ekyali mu kitundu okwongera okunoonyereza ku mbeera ebaddewo ng’okubuuliriza bwe kukolebwa.

Tags:
Bugiri
Poliisi
Masasi
Kitalo!