Ekivvulu kya Gravity Omutujju ekya Kwepiica kkonsati kyakutteyo e Mukono. Oluvannyuma lw’okutongoza e Kampala ku Cricket Oval ku Lwomukaaga, Gravity abadigize abeeyiye mu bungi ku Summer Gardens mu kibuga ky’e Mukono yabasuzizza mu ngatto nga banyumirwa omuziki gwe ku Ssande.
Gravity eyalinnye ku siteegi ku ssaawa musanvu n’eddakiika 12, yagyamuse zigenda mu munaana kitundu ng’abakubye ennyimba lumu ku lumu kumpi essaawa emu n’ekitundu nnambirira.
Mu kusooka, Gravity yawerekeddwako abayimbi ate abanene ab’amannya abaakulembeddwa Jose Chameleon, King Saha, Catherine Kusaasira, Khalifa Aganaga, Green Daddy, Tom D, Betty Mpologoma, Irene Namatovu, Big Eye, Lil Pazo n’abalala bangi.

Omuyimbi omugole era mukyala musumba, Vivian Tendo yeewuunyisizza abawagizi naye bw’ataalutumiddwa mwana mu kivvulu kino eky’Okwepiica mpozzi ne Princes Amiirah ng’ono abadde abuliridde.
Ng’anaatera okuyimba oluyimba lw’olunaku olwa Jangu Tugende mu Kwepiica, Gravity yasoose kulya mulondo n’ategeeza n’abawagizi be nga bwe basaanidde okulya ku mulondo olw’obulamu n’amaka amalungi.

Gravity Omutujju n'omukazi nga basanyusa abantu b'e Mukono ku Summer Gardens mu Kwepiica kkonsati.
Wabula yategeezezza nga ye ennyimba ze bwe zitawemula ng’abantu bwe bakimuteekako wabula mbu abantu bassekinnoomu be bazikyusakyusa ne baziwemuliramu ky’atakkiriziganya nakyo. Wadde ng’ekifo omutegekerwa ebivvulu ku Summer Gardens kinene bulungi, kino Gravity yakukubye n’akijjuza. Yasiimye abwagizi olw’obuwagizi n’agamba nti mu kifo kino, akubyemu ebivvulu ng’ekyasooka kyalimu abantu bangi sso ng’ate kino kyasinzeewo mu bbanga eritannaweza na mwaka mulamba kuba ekyasooka yakikola mu mwezi gw’ekkumi omwaka oguwedde.

Abawagizi ba Gravity e Mukono ku Summer Gardens nga bamulaga essanyu.