Amawulire

Poliisi ekukunudde omu ku bamenyi b’amateeka mu ssabo gy’abadde addukidde okufuna eddagala eriziba abaserikale amaaso baleme kumukwata

POLIISI ekukunudde omu ku bamenyi b’amateeka abólulango mu ssabo gye yabadde addukidde omulaguzi amuwe eddagala liwugule abaserikale baleme okuddamu okumukwata.

Poliisi ekukunudde omu ku bamenyi b’amateeka mu ssabo gy’abadde addukidde okufuna eddagala eriziba abaserikale amaaso baleme kumukwata
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

POLIISI ekukunudde omu ku bamenyi b’amateeka ab’olulango mu ssabo gye yabadde addukidde omulaguzi amuwe eddagala liwugule abaserikale baleme okuddamu okumukwata.

 

Kino kyaddiridde poliisi  okuzuula nga obumenyi bw’amateeka okusitula enkundi mu bitundu  by’e Kinnawataka, Katoogo, Mbuya ne Railway  ng’ababbi beenyigira mu kubba amasasi ku bantu naddala abatambuza ebigere.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yagambye nti ku Lwokuna poliisi ya Jinja Road yasitukiddemu n’esindika abaserikale ne bakola ebikwekweto mu bitundu ebyazuuliddwa nga obumenyi bw’amateeka bweyongedde era nga yakwataganye n’abakulembeze ku byalo n’abantu abagiwa amawulire.

 

Yagambye nti wakati mu kikwekweto abaserikale bakutte Thomas Ocen  amanyiddwa nga Tom lee ng’ono abaserikale bamukukunudde mu sabbo mu Katoogo  gye yabadde agenze ey’omulaguzi okusobola okumusawula n’omuwa eddagala okuwugula abaserikale baleme kuddamu kumukwata.

 

Yategeezezza nti Ocan yagezezzaako okulwanagana n’abaserikale okubalemesa okumutwala nga bw’awagibwa maama we Irene Oriya wabula abaserikale ne bamusinga amaanyi ne bamukwata.

 

Yagambye nti wakati mu kikekweto omu ku baakwatiddwa Norin Yiga yakwatiddwa n’essimu eteeberezebwa okubeera enzibe ekika kya  IPhone Promax 13 nga kiteeberezebwa nti yabadde nzibe.

 

Abalala abaakwatiddwa kuliko Charles  Wandiba, Hasadi Hussein, Alvin Sserunjogi , Abdullah Kadira, Joseph Kaliyo.

 

Nga April 4, 2026 ku ssaawa 8 : 00 ogw’ekiro, poliisi ya Kira diviizoni yakoze eikwekweto e Kyaliwajjala , Namugongo emabega w’essundiro ly’amafuta erya Mogas  Super Deal Hardware  mwe yakwatidde abantu 6.

 

Kawala yagambye nti ekikwekweto kino kyagendereddwamu okukwata obubinja bw’abamenyi b’amateeka obuva e Kireka , Mukono  ne Bweyogerere obwekweka emabega w’essundiro lya mafuta erya Mogas.

 

Tags:
Kasalabecca
Mateeka
Ssabo
Poliisi
Kukunula