Poliisi e Bugiri, ekutte abaserikale baayo babiri ku bigambibwa nti baliko omuntu gwe baakubye amasasi n'afa nga bagenze okukwata omusibe.
Alamanzaani Mugoya 33,omutuuze w'e Nambale mu ggombolola y'e Buwunga e Bugiri, yakubiddwa amasasi, abaserikale ba poliisi bwe baabadde bakwata owooluganda lwe Nasiru Mugoya ku ky'okulumya omuntu.
Abaakwatiddwa, kuliko ASP Innocent Wagaba nga ye OC w'e Buwunga police Station ne nnamba 45470 Cpl. Stephen Okwalinga nga naye akolera ku poliisi eyo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Michael Kasadha, agambye nti bwe baabadde baakakwata omusibe, abooluganda baakubye enduulu ezaasombodde abeekyalo nga balina n'emiggo n'amayinja ne bagezaako okulumba abaserikale era nti mu kwetaasa, ne bakuba amasasi mu bbanga okuli agaakutte Mugoya.