Poliisi eriko abantu babiri b'ekutte olw'ettemu erikoleddwa e Kiboga.
Ettemu , libadde ku kyalo Nabwendo B mu ggombolola y'e Muwanga mu disitulikiti y'e Kiboga, abantu abatannamanyika bwe basse Micheal Sebakunzi 43 amanyiddwa nga Mafia.
Omulambo gwa Mafia, gusangiddwa ku mabbali g'ekkubo eridda ewuwe era nga guliko ebiwundu ebinene.
Poliisi etutte embwa ekonga olusu, kyokka terina kyezudde.
Abakwatiddwa kuliko Hilary Mugisha ne Shaban Muhire abagambibwa nti be baasembye okulabibwako n'omugenzi eggulo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso.