Amawulire

Ssaabasajja awabudde abakulembeze ku nkulaakulana y'ebibuga mu bubaka bwa Paasiika

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asabye gavumenti ey’awakati nti ng'eteekateeka ebibuga emanyise abantu nga bukyali baleke kulinda bantu kusooka kuzimba ate ne bamenya ebintu byabwe.

Ssaabasajja awabudde abakulembeze ku nkulaakulana y'ebibuga mu bubaka bwa Paasiika
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asabye gavumenti ey’awakati nti ng'eteekateeka ebibuga emanyise abantu nga bukyali baleke kulinda bantu kusooka kuzimba ate ne bamenya ebintu byabwe.

 

Kabaka agambye nti ng'Obwakabaka bawagira ebibuga ebitegekeddwa obulungi bannansi bye beeyagaliramu obulungi kyokka wasaanye okubeerawo empuliziganya  ku nteekateeka eno wakati wa bannansi n'abakulembeze baabwe abali ku mulimu guno.

Mutebi bw'afaanana

Mutebi bw'afaanana

Bino biri mu bubaka bwe obukulisa Abakristo ekisiibo n'okubaagaliza amazuukira ga Yesu ag'essanyu nga bufulumiziddwa ofiisi ye olwaleero.

 

Olunaku lw'enkya abakkiririzza mu Kristo okuli Abakristaayo, n'abakatuliki bagenda kukwata amazuukira ga Yesu ate Abasoddookisi baakujaguza nga April 12, 2026.

 

Obubaka bwa kabaka mu bujjuvu:

Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku lunaku lwe tujaguza nga tujjukira okuzuukira kwa Mukama waffe, Yesu Kristo.

 

Olunaku luno lutujjukiza omukwano n’obusaasizi bwa Katonda bw’alina eri abantu be. Tubasaba lutujjukize obuweereza n’obuvunaanyizibwa obutuweebwa mu maka, ebitongole bya gavumenti, ebyobukuumi n’okwerinda nga tukola ebyo ebiyamba abantu be tuweereza.

 

Tumanyi nti ensimbi ezikozesebwa mu gavumenti ziva mu misolo gye tuwa naye, obuweereza obutuusibwa ku bantu baffe naddala mu malwaliro tebumatiza.

 

Tulaba obwetaavu bweyongedde mu byobulamu era Amalwaliro mangi temuli bikozesebwa. Mu bitundu ebisinga obungi naddala mu byalo. emmotoka ezitambuza abalwadde abayi ntono, ezimu zaafa ate awalala teziriiwo.

 

Waliwo n’amalwaliro ge tulaba ku ttivi ng’ebyuma ebikola ku balwadde byagulibwa naye nga bimaze emyaka n’emyaka nga tebiyungibwanga bisobole okukozesebwa. Kuno kwe tugatta amasannyalaze agavaako entakera ekiyinza okuviirako abantu okufa.

 

Tuwagira ebibuga ebitegekeddwa obulungi era bannansi bye beeyagaliramu naye empuliziganya wakati wa bannansi n’abakola ku mateeka esaana okuba ennambulukufu ate ekolebwenga mu budde.

 

 Okumalawo embeera eno, entegeka y’ebibuga esaana emanyisibwe abantu nga bukyali, n’obutalinda bantu kumala kuzimba ate ebizimbe byabwe ne bimenyebwa olw’obutagoberera mateeka.

 

N’olwekyo, obuweereza abantu baffe bwe balimu busaana bukozesebwe bulungi ate mu bwenkanya kisobozese abantu baffe okweyagalira mu nsi yaabwe.

 

Tubaagaliza okuyita mu nnaku z`Amazuukira n’emirembe

 

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II

Tags:
KABAKA Ronald Muwenda
Gavumenti