Poliisi e Kikuube ekyagenda mu maaso n'okuyigga ddereeva w'emmotoka egambibwa okutomera ssentebe wa LC5 n’emutta.
Peter Banura nga y'abadde ssentebe wa disitulikiti eyo, yebyatomeddwa emmotoka y'ekika kya Toyota Hiace agambibwa nti y'abadde ku ndiima ku kyalo Butyamba mu Kikube T/C.
Kitegeezeddwa nti omugenzi, yasoose kutwalibwa mu ddwaaliro e Hoima nti ng'eyo gye baakabatemedde nga bwe yabadde amaze okufa.
Kigambibwa nti ddereeva w'emmotoka yagibuuseemu n'agirekawo n'adduka, nga n'okutuusa kati, bamuyigga.
Ensonda mu poliisi, zitegeezezza nti, ddereeva bamuyigga okuzuula ekituufu, ekyabaddewo.