Abakulembeze ku mutendera gwa Palamenti nga bakulembeddwaamu omubaka omukyala ow'e Kalangala Hellen Nakimuli babakanye n’e kaweefube ow’okusonda ssente z’okuzimba ebbanguliro ly’ebyemikono mu bizinga erinaayambako abavubuka okufuna obukugu obw’enjawulo.
Omukolo gw’okusonda ssente zino gwabaddewo lunaku lwa ggulo ku Lwokutaano era obukadde 30 bwe bwasondeddwa nga ku zino sipiika wa Palamenti Anitah Among yawaddeyo obukadde 10.
Bwabadde omugenyi omukulu akulira oluddwa oluvuganya Gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba asabye Abasese okusitukiramu bakwasizeeko omubaka okulaba nga abaana abawala abava mu masomero olw’ebbula ly'ensimbi n’abakyala bafuna omukisa okusoma emirimu egy’omutwe.
“Temwekubagiza nga mulabanga ekitasoboka kubanga buli omu bw'aneenyigiramu, ettendekero lino lijja kuyamba abaana abatalina mwasirizi n’abakyala abateesobola ate nga bagobye mu by'envuba,” Mpuuga bw'ategeezezza.
Hellen Nakimuli awomye omutwe mu mulimu guno atutegeezezza nti gwa kuwemmenta obukadde obussuka mu 500 era obukugu bwonna bujja kuweebwa abavubuka ku bwereere.
“Abaana bafuna embuto nga bakyali bato, balemwa okumalako emisomo gyabwe kyokka n’ebabulwa n’ebyokola ekibaleetera okwenyigira mu mize omuli okunywa enjaga, obwamalaaya, obubbi era ettendekero lino lyakubbulula abaana abali mu kika bwekityo n’abalala banji,” Nakimuli bw'ayongeddeko.
Abasese basiimye enteekateeka eno era ne beeyama okujiwagira nga mu kino Obwakabaka okuyita mu w'essaza Kweeba bw'awaddeyo ekifo awagenda okuteekebwa ebbanguliro lino.