Diinj wa Lutikko y’e Namirembe eyakawummula, Canon Jonathan Kisawuzi Ssalongo agenze mukuwummula nga munsanyufu. Abakuristaayo ba Lutikko eno bamusiimye mu ngeri ey’enjawulo, nebamutonera mmotoka kapyata, ey’ekika kya Ford Ranger Limited.
Omukolo gw’okugyimukwasa gw’abadde ku Lutikko (e Namirembe) ku Ssande (nga June 22, 2025). Gwatandise n’okusaba okw’okussa ekimu okw’abaddemu abaawule abawerako, nga Viika wa Lutikko Rev Emmanuel Lutaaya, Rev Joseph Luvumu, Rev Samuel Magumba, Diini omupya Venerable Canon Dunstan Kiwanuka Mazinga, Rev Stephen Lumu Lwasi (akulira ekitongole ky’okubuulira Enjiri), n’abalala.
Ebikujjuko
Bweyabadde awa obubaka bwe, Canon Dunstan Kiwanuka y’ategeezezza nti Canon Jonathan Kisawuzi ne Maama Ruth Kisawuzi baweerezza bulungi Ekkanisa, n;amaanyi, n’okwagala, ate ngatewali nziro eboogerwako, emyaka gyonna egyisukka 35 gyebamaze mubuweereza, era nga y’ensonga lwaki Abakuristaayo ba Lutikko baasazeewo okubasiima mu ngeri ey;enjawulo. Y’ebazizza olukiiko olwateekebwawo okukola kunsonga y’ekirabo, olubadde lukulemberwa Timothy Mabiriizi nemukyala Esther Nsibambi olw’okuggusa obulungi obuvunaanyizibwa obwalukwasibwa.
Kkwaaya ng'eyimba mmisa
Bino byonna ngatebinnabaawo, Canon Kisawuzi y’asoose kubuulira mukusaba, era nga essira y’alitadde ku kisa kya Yesu, okwagala kwa Katonda, n’okussa ekimu okw’Omwoyo Omutukuvu. Y’asabye Abakuristaayo okufuba okulaba ngabateeka mu nkola etteeka ery’okwagala. Yennyamidde olw’Abakuristaayo abamu, ababeera mu Kkanisa, kyokka nga emitima gyabwe jijjudde enge, obukyayi, effutwa, obuyagaliza, omulugube, n’ampisa embi endala. Y’ategeezezza nti omuntu atalina kwagala tasobola kumanya Katonda, era aba wa Sitaani.
“Tuteekeddwa okutambula ng’Abakuristayo abalina ekifaananyi kya Katonda. Okussa ekimu bulijjo kwetuyimba tukyakulina? Tukkaanya bwetuba tutudde ng’Abakuristaayo? Entalo n’okuyomba bivaawa? Okwagala kugenda nabikolwa. Tusooke tunoonye Obwakabaka bwa Katonda, ebirala byonna biritwongerwako,” Canon Kisawuzi bweyategeezezza.
Okusiima
Y’atenderezza enkwatagana Abakuristaayo ba Lutikko y’e Namirembe gyebataddewo n’e Bannauganda abali e Bungereza, ne America, ngabakozesa emikutu gyimugatta bantu. Y’ategeezezza nti bwabadde e Bungereza nemukyalawe gyebuvuddeko, abadde agenda neyeetaba mukusaba mu kkanisa ezoogera Oluganda, era nga Bannauganda abasabirayo basanyufu nnyo kubanga buli kiba kigenda mu maaso e Namirembe bakiraba ku mitimbagano, ekibayambye n’okutumbula omutindo gw’okuyimba era nga kati n’Abazungu okusaba kwabwe okw’olw’eggulo kwebaagala okubeeramu.
Omukolo gwetabiddako n’omukubiriza wa Lutikko, Munnamateeka Freddie Mpanga, Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Ow’ekitiibwa Patrick Luwaga Myugumbule, ne Ssabalamuzi wa Uganda eyawummula, Samuel Wako Wambuzi.