Museveni ayanirizza abavubuka abeegasse ku NRM

PULEZIDENTI Museveni ayanirizza ekibinja ky’abavubuka 191 abaasaze eddiiro okuva ku ludda oluvuganya ne beegatta ku NRM.

Pulezidenti Museveni ng’ayogera eri abamu ku bavubuka abaasaze eddiiro okuva ku ludda oluvuganya ne beesoga NRM.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni ayanirizza ekibinja ky’abavubuka 191 abaasaze eddiiro okuva ku ludda oluvuganya ne beegatta ku NRM.
 Abavubuka baavudde mu disitulikiti okuli; Mubende, Kassanda ne Mityana nga  baasoose kubangulwa mu by’obukulembeze e Kyankwanzi n’oluvannyuma ne  basisinkana omukulembeze w’eggwanga mu  maka g’Obwapulezidenti e Ntebe. Museveni yatenderezza abavubuka olw’okukola okusalawo okutuufu n’agamba nti baali
baawubisibwa era n’abasuubiza okubawa obukadde 100 zibayambe okutambuza emirimu gya SACCO yaabwe.
“Obubinja bw’oludda oluvuganya si bulungi, kuba bakozesebwa abantu b’ebweru abalina ebigendererwa ebikyamu ne babalagira okwesonyiwa pulogulaamu za  Gavumenti. Bwe twali tubawa endokwa z’emmwaanyi mu nkola  ya Bonna Bagaggawale baagamba tezijja kubayamba,” Museveni bwe yagambye.
Yeewaddeko ekyokulabirako nti  yali wa DP okuva mu 1960 okutuuka mu 1970. Era wadde nga UPCyabba obululu bwa 1962, yategeeza banne nti kasita tebabbye mmere yaabwe n’abawa amagezi bakozese enkola za Gavumenti ezaaliwo ez’okwekulaakulanya.
Pulezidenti yalaze obwetaavu bw’okweyambisa enkola ez’omulembe mu kukola emirimu kuba kiswaza okuba ng’amawanga agaakula gakozesa byuma okukima amazzi, kyokka nga mu Africa abantu bakyetikka ebidomola ku mitwe. Okusoma yalaze nti  kikulu nnyo ensi bweba yaakukula era n’alaga obukulu bw’enkola ya, Bonnabasome wa Pulayimale ne siniya awamu n’enkola ya Presidential Skilling Hubs, ebangula mu mirimu gy’omutwe.
Enkola y’okulimira ku yiika ennya gye yaleeta mu 1996 yagambye nti eyambye bangi abaatwala  amagezi ge yabawa era mu kiseera kino beeyagala. Mu byonna balina, okukola nga babala kuba omuntu alina yiika ebbiri ez’ettaka tewali nsonga lwaki alimirako taaba ne ppamba. Abantu abalina ettaka ettono, Pulezidenti yabawadde amagezi okwenyigira mu bulunzi bwenkoko, embizzi (abatali basiraamu) n’okulunda ebyennyanja.
“Abamu temumanyi nti ekidiba ky’ebyennyanja ekya yiika emu kisobola okuvaamu obukadde 8  omwaka” Museveni bwe yagambye.
Yayongeddeko nti ekiseera kino Gavumenti ekozesa abantu emitwalo 48 gyokka ate ng’abali mu buweereza naddala ebyobulambuzi, entambula, ebyeddiini n’emirimu emirala egyekikugu bawa abantu obukadde buna emirimu.
Mu kiseera kino nga eggwanga lirina yintanenti n’ebyempuliziganya  ebyomulembe, Pulezidenti  yawadde abavubuka amagezi okweyambisa omukisa guno okutondawo emirimu n’okukolera ebitongole by’ensi yonna.
Akulira eggwandiisizo lya bamwoyo gwa ggwanga, Hellen Seku  yasiimye Pulezidenti olw’okukkiriza n’asisinkana abavubuka abaavudde wansi ku miruka, ebyalo n’amagombolola. Seku yagambye nti abavubuka baabanguddwa mu bintu okuli;  okukuuma emirembe, obumu, okujjumbira pulogulaamu za Gavumenti awamu n’okuweereza ensi yaabwe n’obwesimbu.
Eyayogedde ku lwa bavubuka, Mutumba Byakatonda era nga kansala ku munisipaali ye
Mubende yagambye nti okusooka baali baaludda oluvuganya, kyokka bwe baabanguddwa bakkirizza ne beegatta ku NRM.