ABABAKA ba palamenti ab’eggatira mu kibiina ekirwanirira okukuuma ettaka nga bali wamu n’abalimi b’omutendererwa ogusokerwako wansi w’ekitongole kya ESAFF, bawanjagidde gavumenti okuvangayo ku nsonga ezireesewo enjawukana mu mawanga naddala eziva ku ttaka zebagambye zetobeseemu bannabyafuzi bannakigwanyizi.
Ennaku eziyise pulezidenti Museveni yawa ekiragiro eri Abalaalo abali mu bitundu by’e Karamoja okubyamukya kyeyagamba nti kireseewo obutali butebenkenvu nga abamu babba ettaka ly’abannabwe kwosa n’ente zaabwe okwonoona ebirime by’abalala.
Kino abamu ku abalaalo bavaayo nebakiwakanya nebategeeza nti ettaka kwebalundira lyabwe era baligula.
Munsisinkano abamu ku babaka ba palamenti gyebabadde n’ekitongole kya Eastern and Southern Africa Small-scale farmers’ Forum (ESAFF) okwefumitiriza ku ngeri y’okukwatamu ettaka ly’obwannanyini n’okulikolerako, ababaka bategeezezza nga amateeka bwegali obubeezi mubiwandiiko nga abantu ba wansi naddala abakyala bakyanyigirizibwa.
Christine Nakimwero Kaaya omubaka omukyala ow’e Kiboga agambye nti ensonga y’abalaaro etekeddwa okukwatibwa n’obwegendereza kubanga kyandiba nga bannabyafuzi abamu benonyeza byabwe so nga amateeka galagira bannansi okugula ettaka mu bitundu webagala.
Lutamaguzi Ssemakula nga ye minisita ow’ekisikirize avunanyizibwa ku ttaka agambye gavumenti esanye eveeyo n’amanyi ku nsonga ezimu nga n’ebitongole nga bino birina okuyambako okugenda mu byalo okusomesa abantu amateeka ku ttaka so si kukoma ku bibuga byokka.
Hakim Baliraine nga mulimi okuva mu ESAFF agambye nti yadde amateeka galagira buli omuntu okubeera n’obwannanyini, naye ate waliwo abamu abalina enzikiriza ezenjawulo nga tebakiriza bakazi kubeera na ttaka.
Irene Nakijoba omulimi okuva e Mukono agambye nti nga abakyala basasosolebwa ku ttaka okuviira ddala mukika gyebazaalwa nemumaka gyebafuubirwa so nga basobola okulimirako emmere negasa eggwanga okusinga abasajja abalitunda obutunzi.