Batongozza MuduumaBatongozza okukola oluguudo lwa Mpigi - Muduuma

GAVUMENTI etongozza okutandika okuyiwa kkoolaasi ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Muduuma, oluwezaako kkiromita 15 n’okusoba.

Minisita Kabanda (owookubiri ku kkono) ng’atongoza okukola oluguudo luno.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI etongozza okutandika okuyiwa kkoolaasi ku luguudo oluva e Mpigi okudda e Muduuma, oluwezaako kkiromita 15 n’okusoba.
Omukolo ogw’okutongoza omulimu guno gwabadde ku kisaawe kya Kibutu mu Town Council y’e Muduuma, nga minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda ye yabadde omugenyi omukulu.
Kkampuni y’Abachina eya Zhongmei Engineering y’egenda okuzimba oluguudo luno, ku ssente obuwumbi 60 n’obukadde 107. Pulojekiti eno egenda kumalirizibwa mu myezi 18, era ng’evujjirirwa bbanka y’ensi yonna mu nteekateeka y’okukulaakulanya ekibuga Kampala n’emiriraano mu nkola ya Greater Kampala Metropolitan Area Urban Development Programme (GKMA-UDP).
Oluguudo luno lwakuyambako okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka ku luguudo lw’e Masaka n’olw’e Mityana, ng’ava eMasaka ng’adda e Mityana tekimwetaagisa kumalayo Busega era kye kimu n’abava e Mityana nga badda e Masaka oba e Gomba.
Akulira eby’emirimu ku disitulikiti e Mpigi, Edith Namaiga, yagambye nti, oluguudo luno lugenda kwanguya entambula y’abantu, era abalimi baakuganyulwa nga batambuza bulungi ebyamaguzi okutuuka mu katale.
Abasuubuzi, n’abantu ba bulijjo abakeera okugenda ku mirimu n’okunoonya obuweereza obulala nga obwamalwaliro, nabo oluguudo lwa kubayamba.
Namaiga era yagambye nti, bannannyini ttaka oluguudo mwe lugenda okuyita, bakkirizza okuwaayo ettaka ku bwereere, olw’obulungi bw’ekitundu kyabwe. Yasabye abakyagaanyi nabo baweeyo ettaka, oluguudo luyitewo ekitundu kikulaakulane.
Pulojekiti eno Namaiga yagambye nti, egenda kuganyula ab’e Mpigi okuyita mu kukola enguudo okuli olwa; Mpigi -Muduuma, Lungala Link ne Nakirebe – Buyala oluwezaako kkiromita mwenda n’obutundu musanvu.
Kuno kw’ossa okuzimba n’okugaziya akatale k’e Mpigi aka Mpigi Central Market, n’akalala akasuubirwa okuzimbibwa e Bujuuko, kwossa okuzimba emyala egy’enjawulo.
Minisita Kabanda yasabye abantu b’e Mpigi okulondoola enkola y’emirimu ku pulojekiti eno okulaba nga tedibagibwa, kuba esinga kuganyula bo ab’omu kitundu. Pulojekiti ya GKMA-UDP egenda kuganyula disitulikiti okuli Wakiso, Mukono, Mpigi, kw’ossa munisipaali y’e Kira, Nansana, Ntebe, Mukono ne Makindye Ssaabagabo.