NRM eraze ennaku z'okusunsula abaagala ebifo ku CEC

ABA NRM abaagala okuvuganya ku lukiiko lwa CEC, batandise okuggyayo empapula. Akulira akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, Dr. Tanga Odoi yalangiridde nti abaagala okuvuganya ku bifo bya CEC bagenda kuggyayo empapula kutuuka June 30, 2025.

Omumyuka wa ssentebe w’akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, Fred Jachan Omach ng’asunsula Sharon Nassolo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABA NRM abaagala okuvuganya ku lukiiko lwa CEC, batandise okuggyayo empapula. Akulira akakiiko ka NRM ak’ebyokulonda, Dr. Tanga Odoi yalangiridde nti abaagala okuvuganya ku bifo bya CEC bagenda kuggyayo empapula kutuuka June 30, 2025.
Yannyonnyodde nti baakutandika okusunsulwa okuva nga July 1, okutuusa nga July 4, 2025 er ga ne ssentebe w’ekibiina, Gen. Museveni kw’olwo nga 4 July  lw’asuubirwa okusunsulwa ku bifo bibiri okuli ekya ssentebe w’ekibiina n’eky’okukwatira ekibiina
bendera okuvuganya ku kifo kyaPulezidenti mu kalulu ka 2026 .
Dr. Tanga yagambye nga July 5, wajja kubaawo okulonda kw’abakulembeze ku lukiiko lwa CEC, ab’obubondo okuli abakiikirira abaliko obulemu, abakozi, abavubuka, abakyala n’abalala.
ABASUNSUDDWA
Abantu abasoba u 1,500 be baakasunsulwa okuvuganya ku bifo bino era
okwewandiisa kukomekkereza nga June 30, 2025.
Ku baasunsudwa kuliko; omumyuka asooka owa Katikkiro wa Uganda, Rebecca kadaga ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Kamuli era ono yeebazizza kkampuni ya Vision Group olw’okunoonyereza kwe baakoze ku bakulembeze abakyala, okwalaze nti y’omu ku bakyala abakyali ab’amaanyi, abalonzi be balinamu essuubi. Sharon Nassolo Umtoni naye yasunsudwa ku ky’omubaka w’abavubuka mu bitundu bya Buganda.
OKULONDA OKWAYIIKA Olukiiko lwa CEC olwatudde lwasazeewonti mu bifo yonna okulonda kw’ebyalo gye kwayiika si kwakuddamu kati wabula kwakubaawo
ng’okulonda kwonna okw’ekibiina okukyagenda mu maaso kuwedde.
Ebitundu okulonda gye kwayiika kuliko; Ssembabule ng’eno ssentebe wa distulikiti ow’ekibiina teyalondebwa, Lira n’awalala.