ABALONDOOZI ba bizinensi y’okugula n’okutunda emmwaanyi bagumizza abalimi b’emmwaanyi mu Uganda ku bbeeyi ebeeraliikirizza olw’okukka nti, kino kya kaseera kuba akatale kagaziwa buli kiseera.
Joseph Nkandu, akulira ekibiina kya National Union of Coffee Agribusiness and Farm Enterprises (NUCAFE), ekigatta ebibiina by’abalimi mu Uganda agamba nti, abalimi b’emmwaanyi tebasaanidde kusattira kuba kino kiseera ekigenda okuyita bbeeyi eddemu erinnye.
“Akatale k’emmwaanyi ak’ensi yonna keeyongera buli kiseera kuba abantu n’amawanga agaali tegamanyiddwa mu kunywa kaawa nga China kati gamwettanira, ekitegeeza nti, emmwaanyi ezeetaagibwa ku katale zikyali ntono n’okusinga ze tusobola okuwaayo,” Nkandu bw’agamba.
Agamba nti, ng’oggyeeko abanywa kaawa okweyongera, emmwaanyi zassibwa mu mmere ey’omugaso ng’ekitongole ky’eddagala mu Amerika ekya Food and drugs ate n’ekyobulamu mu nsi yonna byatongoza emmwaanyi ng’ekirime eky’omugaso mu bulamu.
EKISUDDE BBEEYI Y’EMMWAANYI
Dr. Gerald Kyalo, kaminsonaavunaanyizibwa ku kukulaakulanya emmwaanyi mu minisitule y’obulimi, obulunzi n’obuvubi agamba nti, ekisinze okuvaako bbeeyi y’emmwaanyi okugwa ge mawanga agamanyiddwa okulima emmwaanyi okutandika okukungula ne gajjuza akatale.
Agamba nti, amawanga ngaBrazil ne Vietnam agamanyiddwa okulima emmwaanyi gaatandise okukungula emmwaanyi oluvannyuma lw’okukosebwa embeeya y’obudde emyaka ebiri egiyise.
“Emmwaanyi amawanga ganoge zifulumya, ze zissizza bbeeyi y’emmwaanyi okwetooloola ensi yonna. Bbeeyi tegudde mu Uganda mwokka wabula n’amawanga amalala agalima emmwaanyi,” Dr. Kyalo bw’agamba.Nkandu yategeezezza nti, leero kase agula wakati wa 9,000/- ne 9,500/- okuva ku 15,000/- n’okudda waggulu kkiro kw’ebadde egulirwa. Agamba nti, ng’oggyeeko Brazil ne Vietnam okutandika okukungula kuba amakungula gaazo gatandika mu April, entalo okuli olwa Ukraine ne Russia ate kati n’olwa Iran zikalubizza entambuza y’emmwaanyi.
“Emmwaanyi zaali ziyisibwa ku mazzi ng’olugendo lumpi era nga lukolera abazitwala ebweru amagoba, wabula leero olugendo olukozesebwa luwanvu ng’omusuubuzi alina kusala bbeeyi asobole obutafiirwa,” Nkandu bw’agamba.
Akubiriza abalimi okwongera okugirima obutaddiriza kuba ebbeeyi essaawa yonna egenda kuddamu okulinnya era omulimi afune akasente akeeyagaza.
Abalimi n’abasuubuzi b’emmwaanyi bagamba nti, wadde gavumenti terina kakwate mu kukka kwa bbeeyi yaazo, baginenya lwa butabalabula okusobola okuzeetundako nga bukyali.
Joseph Yawe nga mulimi era nga musuubuzi wa mmwaanyi mu Kampala agamba nti, ekitongole ky’emmwaanyi mu minisitule y’obuiimi, obulunzi n’obuvubi basuubirwa okuba nga balina abakugu abalondoola akatale kaazo wano ku ggwanga ne wabweru okusobola okulung’amya abali mu mulimu guno ku kigenda ku maaso