ABAZIGU b’ebijambiya bayingiridde ekikomera omusula abadde omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima ne batta omukuumi n’okumunyagako ebintu.
Obulumbaganyi buno bubaddewo mu kiro ekikeesezza leero ku lwomukaaga, abazigu b’ebijambiya bwebalumbye ekikomera ky’omugenzi Kasaato ekisangibwa e Kabowa mu zooni ya Ssimbwa, nga muno abadde omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima naye mwapangisa, ne batta omukuumi akuuma enyumba zino ne bakuliita n’essimu za Nampiima, ebiwandiiko ebimu, ensawo y’omungalo, ssente, Tv n’ebirala.
Ab'ebyokwerinda nga bali mu maka ga Nampiima agasangibwa e Kabowa
Omukuumi nga kati omugenzi Matia Kintu Ssalongo 78, abadde atudde ku katebe wabweru ku nnyumba ya Nampiima, webamusanze ku ssaawa nga musanvu ez’ekiro ne bamukuba akayondo mu kyenyi naagwa wansi.
Nampiima n’abomumakaage baawulidde nga muzeeyi abolooga ne bamanya nti ayinza okuba afunye obuzibu ne bafuluma okumulaba , wano ababbi webabasaliddeko ne babasinza amaanyi ne bayingira munda ne batwala TV, ssente, amasimu ga Nampiima gombi ag’omungalo n’ebimu ku biwandiiko byebasanze okumpi ne beemulula ne badduka.
Mu kudduka, ebimu ku biwandiiko ebyabbiddwa mu maka ga Nampiima bigenze biwandagala mu kkubo, poliisi ekedde okulaba ogubadde y’ebironzelonze, Nampiima akubidde amangu abantu b’omukuumi we abadde asigaddeko ekikuba mukono essimu, ne basooka bamuddusa mu ddwaaliro e Lubaga, oluvannyuma gyaggyiddwa okutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, gyafiiridde ku ssaawa mukaaga ez’omuttuntu ly’olwomukaaga.
Ennyumba Nampiima mwasula awakoleddwa obulumbaganyi
RPC wa Kampala South Charles Nsaba ng’ali wamu ne DPC w’e Katwe David Kamugira, n’akulira ba mbega ku poliisi e Katwe Rashidah Naluzze, batuuseeko mu kikomera kya Kasaato okulaba ebyaguddewo era ne babaako byeboogeraganyamu ne Nampiima.
Namwandu Sarah Namuyiga Nalongo, mu kusoberwa agambye nti baakubidde muwala we essimu ekiro ssaawa nga munaana nti abatemu bamukubye, ne bagezaako okutaasa obulamu bwe naye naafa ku lw’omukaaga mu ttuntu, agamba nti aludde ng’asaba bba okuva ku mirimu gy’obukuumi naye nga yagaana okutuusa lwafudde.
David Kavuma Nkambwe, akulira eby’okwerinda mu zooni ya Ssimbwa e Kabowa agambye nti, abazigu baludde nga babasumbuwa okutuusa bwebaalumbye owa poliisi ate nebatta n’omuntu, nategeeza nti nabo kibakubye encukwe okulaba ng’abazigu tebatidde mukwasisa ddembe naye nebamuyingirira.
Omugenzi nga bw'abadde afaanana
Agamba nti, abazigu abaalumbye Nampiima baabadde wakati wa 6 ne 7, Nampiima b’amubbyeeko ebintu ebiwerako okubadde; TV, ensawo y’omungalo, essimu ze ez’omungalo, ssente wamu n’ebiwandiiko bye eby’omugaso.
Luke Oweyesigire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano agambye nti bali mu kutegeka ekiwandiiko ku bulumbaganyi buno nti era baakukifulumya mu bwangu ddala