Omusango gwe gutandise n’akuba ebituli mu nsala eyamuggya mu Palamenti

OMUBAKA wa Kawempe North, Erias Luyimbaazi Nalukoola asitudde ttiimu ya bannamateeka ne bawaayo mu butongole empapula z’okujulira mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ensala y’omulamuzi Benard Namanya eyamugoba mu Palamenti.

Munnamateeka George Musisi (ku kkono) ow’omubaka Erias Luyimbaazi Nalukoola (ku ddyo) ng’ayogerako eri Bannamawulire. Mu katono ye, Nambi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA wa Kawempe North, Erias Luyimbaazi Nalukoola asitudde ttiimu ya bannamateeka ne bawaayo mu butongole empapula z’okujulira mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ensala y’omulamuzi Benard Namanya eyamugoba mu Palamenti.
Nalukoola ng’ali wamu ne bannamateeka be okuli; George Musisi ne Remmy Bagenda baataddeyo okujulira ne banja ensonga zaabwe 14 mwe bagamba nti, omulamuzi Namanya yakola ensobi ng’asala omusango guno ogwaloopebwa Faridah Nambi eyawakanya obuwanguzi bwa Nalukoola bwe yafuna mu kalulu akaddibwamu e Kawempe North.
Mu zimu ku nsonga ze beesigamyeeko, Nalukoola agamba nti, kikyamu nnyo omulamuzi Namanya okugamba abantu 16,000 mu kulonda kuno baalemesebwa okwetaba mu kulonda mu bifo 14.
Yagambye nti, mu nsala eno mwalimu ensobi ng’omulamuzi Namanya teyeetegereza bujulizi obwaleetebwa Nambi nti, Nalukoola yakuba kampeyini ku lunaku lw’okulonda mu kifo kya Mbogo Primary School (KAT-MAJ) ne Kazo Angola (KAL -KZ) bwatyo agamba nti, omulamuzi Namanya yakola okusalawo okukyamu ku nsonga eno.
Nalukoola yeemulugunyizza nti, omulamuzi Namanya yabagaana okukunya abajulizi 19 ku abo abaakuba ebirayiro ebyaleetebwa mu kkooti nga bwekityo mu nsala eno tewaaliwo bwenkanya.
Yagambye nti, omulamuzi ensala ye yagikola mu kusalawo okukyamu bwe yagamba nti, waliwo obutali bwenkanya mu kulonda kuno okwakosa ebyava mu kulonda.
Bwatyo Nalukoola ayagala kkooti yeesigame ku nsonga ezo esazeemu ebyo ebyasalibwawo mu kkooti y’omulamuzi Namanya asigale mu Palamenti.