Obwakabaka bulangiridde enkola ya ‘lukumi lukumi’ mu bika

OBWAKABAKA bwa Buganda bulangiridde enkola y’abazzukulu  mu buli kika okwesondera ssente ezinaabakulaakulanya.

Omutaka Kisolo (atudde ku kkono mu maaso) n’omutaka Ssenjobe (amuddiridde) ku mukolo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBWAKABAKA bwa Buganda bulangiridde enkola y’abazzukulu  mu buli kika okwesondera ssente ezinaabakulaakulanya.
Ekirangiriro kino kyabadde mu b ubaka minisita w’obuwangwa n’ennono mu Bwakabaka bwa Buganda, Anthony Wamala bwe atisse Omutaka w’akasolya
k’ekika ky’Eng’onge, Kisolo Muwangam mSsebyoto eri bazzukulu ba Ssenjobe abeddiira Enjobe.
Guno gwe gumu ku mikolo gy’okulambula Obutaka bw’Ebika  minisita Wamala gw’atambuza ng’ali wamu n’omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka era ow’akasolya mu kika ky’Ekkobe,
Namwama Augustine Kizito Mutumba. Ku luno yabadde ku  butaka bw’abeddira Enjobe e Bbinikira mu Ssingo. Omukulu w’Ekika ky’Enjobe, Willy Ssenjobe Zzaabu yategeezezza Kisolo ng’abeddira Enjobe  bwe bakuumye obutaka nga  n’ettaka lyabwe eriwerako yiika bbiri likyakuumiddwa bulungi.
Yagambye nti mu Kika kyabwe temuliimu nnyo bukundi bumuwakanya ate nga  n’abaamasiga  omukaaga agakola Ekika mawulize ddala eri obukulembeze.Mu bubaka bwa minisita, yakuutidde Abaziranjobe okujjumbira enkola y’okusondera ssente mu Bika byabwe ate nga basonda ezitabakaluubiriza.
“Ekika ekiweramu abazzukulu 10,000, bwe beekolamu omulimu buli mutwe ne guwaayo 1,000/- buli mwezi abazadde ne baweerayo n’abaana baabwe, buli Kika kisobla bulungi okukung’aanya obukadde 100 nga zimala bulungi ebisoomoozebwa mu Bika  n’okumala obwavu mu bazzukulu,” Kisolo bwe yasomye obubaka bwa minisita.