AMASASI ganyoose e Bombo nga poliisi ekwata abavubuka abaaleeteddwa mu kibinja okusaawa emmwaanyi z’omutuuze ze yafuna mu nkola ya PDM lwa nkaayana za ttaka mu ffamire.
Ettaka lino liri ku kyalo Kitanda-Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso ng’abakaayana ba ffamire y’omugenzi Mikayiri Mukupe.
Ebirime ebyasendeddwa byabadde bya muzzukulu, Lawerence Wakonye ne mukyala we, Teo Wakonye ebibadde ku yiika munaana. Abaakwatiddwa kuliko; Muzamir Semukaaya, Matayo Kibombo ne Michael Mukupe, oluvannyuma yateereddwa ku kakalu ka poliisi nga bano bonna bazzukulu abavunaanyizibwa ku bintu by’omugenzi
Mikayiri Mukupe, eyali jjajjaabwe. Omulala eyakwatiddwa ye mugagga
eyategeerekeseeko erya Kuteesa agambibwa okugula ettaka, ne guleeda bbiri ezaasangiddwa zisenda ne zitwalibwa ku poliisi ya Matugga. Teo Wakonye era nga y’amyuka ssentebe w’ekyalo kino yagambye nti emmwaanyi ezaasendeddwa
zisukka yiika bbiri nga baazifuna mu nkola y’okwegobako obwavu eya PDM. Yayongeddeko nti ettaka kubaddeko olusuku olusukka yiika bbiri, emisiri gya lumonde ne muwogo, kasooli, ovakedo, emiyembe, n’ebirala.
Wakonye agamba nti enkaayana zino zirudde ng’abavunaanyizibwa ku byobugagga bya jjajja Mukupe bagenda bafeffetta buli webiri naddala ettaka ery’enjawulo nga balitunda. Bwe baatuuka ku ttaka eryaffe twabalaga nti liri mu mannya ga kitaffe Yosefu Muddu.
Ayongerako nti ensonga baazituddemu enfunda eziwerako wamu n’abakulembeze ab’enjawulo. RDC w’e Nansana, Charles Lwanga yasaba ffamire zombi ezikaayana okufuna abasaveya tukole okunoonyereza ku ttaka. Twaddamu okunoonyereza ng’ettaka lino okusooka lyali mu mannya ga Yosefu Muddu oluvannyuma ne lidda mu mukulu wange, Dominic Lwanga Mukopi avunaanyizibwa ku
bintu by’omugenzi Muddu nga baagenze okusenda emmere yaffe nga tuteekateeka kutuula mu lukiiko ne RDC Lwanga tuttaanye ensonga. Abakwate bagguddwaako omusango gw’okutema emmere y’abatuuze ku ffayiro SD 46/12/06/25