Poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku kufa kw'omuyizi wa MUBS, Alvin Nyanja .
Ono yasangiddwa mu room ya girlfriend we Eunice Birungi ku Ismeal Rd e Mbuya Nakawa mu Kampala ku Lwokubiri ng'ataawa n'afiira mu clinic emu.
Nyanja abadde abeera ne bakadde be Peter Wasswa Wajja mu Kimbejja Buddo mu Kyengera town Council.
Abadde asoma mu mwaka gwakubiri era yaziikiddwa eggulo e Kalongo Kaliisizo .
Omuwala yakwatiddwa kyokka n'ayimbulwa ku kakalu ka poliisi ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.