Omuntu omu attiddwa n'omulala n'olumizibwa byansusso, poliisi bw'ebadde agobagana n'abagambibwa okuba ababbi abebijambiya.
Kidiridde ekibinja ky'abavubuka abagambibwa okubeera n'amajambiya, okusuula emisanvu mu kkubo ne batandika okukoona ennyumba e Bulenga mu zooni ya Kikaaya e Wakiso.
Kigambibwa nti ekibinja ekibadde n'ebyuma okuli n'ennyondo , kyapangisiddwa okukoona ennyumba ku plot okuli enkaayana era wakati mukusoberwa, abatuuze bakubidde poliisi n'etuuka kwe kukubako babiri omu n'afa.
Afudde ye Kasirye ate omulala Reagan Kabuye n'atuusibwako ebisago era nga ali mu kujanjabibwa e Mulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti Bataano bakwatiddwa era ne baggulwako emisango gy'okubbisa eryanyi n'okwonoona ebintu.