Amawulire

Abambala ebya UPDF ne bakola ebyambyone bubakeeredde

OLUDDA oluwaabi kkooti y'amagye lusabye abantu abakozesa ebyambalo bya UPDF okuzza emisango baweebwe ekibonerezo ekinene bafuuke eky'okulabirako.

Abakwate nga bali mu kkooti
By: Margaret Zalwango, Journalists @New Vision
OLUDDA oluwaabi kkooti y'amagye lusabye abantu abakozesa ebyambalo bya UPDF okuzza emisango baweebwe ekibonerezo ekinene bafuuke eky'okulabirako.
 
Lt Alex Mukhwana ku lw'oludda oluwaabi yasabye bw'atyo bwe yabadde awaayo okusaba kw'oludda oluwaabi ku kibonerezo ky'abasajja abaakola obwakkondo nga bambadde yunifoomu za UPDF nga balina n'emmundu ne babba abasaaze abaali bali ku ng'endo zaabwe. 
 
Umar Kakooza oluusi yeeyita Kabano (31) w' e Namulaba e Lwengo, Musa Kasinga yeeyita Kifa Munyanja w'e Kabulengwa Nansana, Yasin Kajubi we Nansana, ne Yasin Kyambadde eyeeyita Dogo w'e Bulasana mu Lwengo be basingiddwa ogw'obwakkondo oludda oluwaabi ne lusaba bakaligibwe ekibonerezo ekikakali.
Bano bakkiriza nti  September 23, 2018 ekiro mu ttumbi mu Kisojo Town Council e Kyenjojo bateega emmotoka ne banyaga abasaabaze ssente eziri mu 5,000,000/=, essimu ezo mu ngalo, laptop ebalirirwamu ssente 2,000,000/= n'ebintu ebirala.
 
Mu bunyazi buno , oluvannyuma oba nga tebannabukola baalina emmundu ekika kya pisito nnamba POL 15-CN 02 321334005 ne SMG POL UG 1984 AL 439717412 ng'erimu amasasi 30 agakola obulungi.
 
Kyokka ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Mugabe ababuuza emmundu gye babbisa gy'eri ne bategeeza nti yali ya mukwano gwabwe wabula kati tebamanyi gy'ali. Baakudda mu kkooti basalirwe ekibonerezo.
 
Kigambibwa nti bano baali n'abalala okuli; Kasekende Micheal, David Kayinga, Kasim Lubega n'omujaasi PTE Bosco Ssenyimba wabula bo beegaana emisango egy'obwakkondo n'okusangibwa n'emmundu mu bukyamu.
Tags: