KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga akunze Famire n'ebika okutwalira awamu okweyambisa emitimbagano bateekeko ebyafaayo byabyo kisobozese buli mujjiji okubitegeera obulungi.
Mayiga agamba nti okuwandiika ebintu bino ebika ku Famire n'ebika kyakuyamba okumanyisa n'abalijja mu myaka 500 mu maaso n'awa eky'okulabirako Kya Bayibuli ne Kkulani ebyawandiika edda ng'era okuteekebwa ku mitimbagano kiyambye okusasanya enjiri.

Famire ya Ssenkoole ng'ekwasa Katikkiro Mayiga ceeke y'oluwalo lwa 5,000,000/-
Obubaka buno abuwadde asisinkanye ab'oluggya lwa Ssenkoole e Buwaate-Kira mu Kyadondo abakulembeddwamu Omuyimbi Messach Ssemakula ng'ebadde mu maka ga Katikkiro amatongole agasangibwa e Butikkiro-Mmengo olwaleero October 28,2025.
"Mbasaba ensonga zamwe muziteeke ku mu timbagano. Kaakati Abamu (Ku bazzukkulu bammwe) bali mu gavumenti, abalala bweru, balijja ddi e Katende ku Butaka bw'olugave oba e Buwaate gyemubeera.
Naye bwebigenda ku mutimbagano babimanya mangu. Bayibuli ne Kkulani biri ku mitimbagano era bagamba bugambi nti bikkula Ebbaluwa ya Pawulo eri Abakkolinso ng'oli abiraba," Mayiga bwawabudde ku bigenda okukuuma Obuwangwa bwa Buganda.
Mayiga asabye bazzukkulu ba Ssenkoole bano okukulakulanya Mayiro eno eyaweebwa Bajjajjaabwe, ebeereko ebintu by'enkulakulana ebinasobola okukuuma ettaka lino, lireme kussalimbirwako era neyeebaza Ssemakula Ono olw'okubeera sereebu akolaganika naye ate ayagala Kabaka.

Semakula ne banne nga bakyadde embuga
Minisita wa Kabineeti n'Olukiiko Noah Kiyimba yaabaddewo ku lwa Minisita w'Obuwangwa n'ennono ng'asabye Famire zonna Okulabira ku bano bajjumbire omulimu gw'okuzimba Obuganda ate n'okwekuuma nga bali bumu.
Omukulu w'Oluggya lwa Ssenkoole e Buwaate, Edward Mukiibi atenderezza emirimu emirimu egisisimudde Obuganda n'amusaba ayongere okuteeka essira ku kukunga abantu okwogera n'okukuuma Olulimi Oluganda kubanga mwemutudde Obuwangwa bwa Buganda.
Ye Ssemakula yeebazizza Katikkiro Mayiga olw'okukkiriza bajje bakyaleko mu Butikkiro era neyeyama nti bagenda kutandika omutimbagano okubeera buli Kalonda akwata ku Famire ya Ssenkoole n'okumaliriza okuwandiika ekitabo ekimukwatako.

Katikkiro ng'ayaniriza ab'olugave e mbuga
Ssenkoole yali Mumboowa omukulu ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II, omu ku baakulemberamu omulimu gw'okukangavvula abasomi abaajjemera ebiragiro bya Kabaka oluvanyuma abaafuuka abajjulizi ba Uganda ate n'okusimisa ennyanja ya Kabaka e Ndeeba.
Bano baleese amakula ga Kabaka ga nte Bbiri, Oluwalo lwa 5,500,000/- ate n'ebirabo bya Katikkiro okuli embuzi n'amatooke.