Amawulire

Poliisi eggalidde abawagizi ba NUP 10 lwa kukuba baserikale

POLIISI erabudde bammemba b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okukomya okukola efujjo n’okusika omuguwa n’abaserikale nga batalaaga eggwanga okunoonya obwaguzi mu kukuyega abalonzi.

Poliisi eggalidde abawagizi ba NUP 10 lwa kukuba baserikale
By: Eria Luyimbazi, Journalists @New Vision

POLIISI erabudde bammemba b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) okukomya okukola efujjo n’okusika omuguwa n’abaserikale nga batalaaga eggwanga okunoonya obwaguzi mu kukuyega abalonzi.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke yagambye nti bammemba b’ekibiina kya NUP wamu ne bakanyama abaakazibwako erya (Foot Soldiers) bassusse okusoomooza abaserikale no’kubakuba ne bafuna ebisago nga kati poliisi egenda kubakolako.

 

“Poliisi egumiikirizza nnyo eri abawagizi ba NUP naye kirabika bayiseewo kuba mu kutalaaga eggwanga nga bakuyega abantu ate batandise okusosonkereza abaserikale nókubakuba naye kati bino bikomye” Rusoke bwe yategeezezza.

 

Yagambye nti ku Lwokubiri  ku saawa 7: 00 ez’emisana nga pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu eyabadde  ava e Lira okudda Alebtong okukuyega abalonzi mu kitundu kino bwe yatuuse ku kyalo Obot abawagizi be baasazeeko ekkubo ne balumba mmotoka nnamba UBK 380 Q eyabaddemu abaserikale  ne bagifumita emipiira ne bakuba abaserikale n’okubanyagulula.

 

Yagambye nti era abawagizi ba NUP mmotoka eno bagibbyemu liita z’amafuta 20 , laptop n’engoye z’abaserikale nga bano bagambye nti mmotoka eno yabadde ebawundera era nga erimu ekyuuma ( Jammer) ekibalemesa okusindika obutambi bwabwe ku mikutu egy’enjawulo.

 

Yategezezza nti poliisi yasazeewo okukwata abeenyigidde mu kukola effujjo erino era abaserikale bagenze ku wooteeri we baabadde ne bakwata abantu 10 okuli Paul Precious Ssembuusi, Ismail Bukenya, Liberty Lokola , Raston Waiswa, Hope Nasozzi, Salimani Kaggwa, Masitula Nakabuye, Robert Kamulegeya, Alison Lubega ne Steven Katamba nga bakuumirwa ku poliisi y’e Lira.

 

Bano bagguddwako emisango gy’okukuba abaserikale n’okubba .Era mu kikwekweto ekyakoledddwa poliisi yakutte mmotoka nnamba UA 9333 AU. Yagambye nti kati poliisi entandise okukwata abo abakuliramu okusosonkereza n’okukuba abaserikale basobole okubavunaana.

Tags:
Amawulire
Poliisi
Kulabula
NUP
Lira
Kukwata
Mmotoka
Ffujjp
Ffujjo
Robert Kyagulanyi Ssentamu
Kuwagira
Bawagizi