ABANTU basatu abaffamire emu bafiiridde mu kabenje mmotoka mwe babadde batambulira bw’etomeraganye ne bbaasi.
Abaafudde mulimu Musa Nyago, mukazi we Swabura Nakanyike n'omwana waabwe Fazil Kintu owa wiiki ebbiri.

Bbaasi eyaweddewo bwe yabadde efaanana.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti akabenje kaaguddewo ku ssaawa 2:30 ez'ekiro ekyakeesezza olw'okusatu mu Binyonyi Zone mu Luweero okumpi ne minzaani epima ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Bbaasi ya kkampuni ya ECO Yutong No. SSD 251Z, eyabadde eva e Gulu okudda e Kampala bwe yayisizza mmotoka ssatu n'eyambalagana bwenyi ku bwenyi ne kanta y'amafuta No. UAV 920Q.

Omugenzi Nyango bwe yabadde afaanana.
Bbaasi yagudde mu lukonko abaagibaddemu abawera 19 ne baddusibwa mu ddwaliro e Kasana nga bafunye ebisago, kyokka ddereeva waayo yavuddemu n'adduka.
Poliisi esabye abavuga ebidduka okugondera amateeka g'oku nguudo omuli okwewala okuvugisa ekimama okwewala obubenje bw’ekika kino.