EMPAKA za Bukedde ez’okufumba Solobeza zitongozeddwa ng’omukolo gw’oku zitongoza gubadde ku Mulungu Leisure Park.
Omukolo gwetabiddwako abategesi aba Bukedde ababadde bakiikiriddwa Dorah Namaala akola pulogulaamu y’Ekyenkya, abavujjirizi okuli Nec Uzima Ltd, Mount Meru Millers Uganda Ltd abakola butto wa Star Goldy cooking, Rika Mchuzi Mix, abakugu mu kufumba n’abakozi e Mulungo.
Dorah Namala ku lwa Bukedde ategeezezza nti oluvannyuma lw’empaka zino okutongozebwa zaakutandiika okuyinda mu butongole nga 24 November e Kajansi mu katale olwo ziryoke zigende nga ziyindira ne mu butale obulala.
Agamba nti empaka zino ziyamba abazeetabamu okuyiga n’okwongera ku kumanya kwabwe mu kufumba saako okukwatagana n'abantu ate ng’eno bwe bawangula ebirabo bw’atyo n’asiima abazitaddemu ssente omwaka guno.
Karen Natukunda kitunzi wa Mount Meru Millers Uganda Ltd abakola butto wa Star Goldy cooking, alambuludde nti butto waabwe wa mutindo okufumbisibwa ate nga taliimu masavu n’abo abatalya nnyama basobola okumwettanira.
Natukunda agamba nti butto wabwe ali mu bipimo eby’enjawulo okuli; bipaketi, obudomola ate ku miwendo egyisoboka era nakunga abasuubuzi n’abantu abagula kamu kamu okumwettanira.
Nicholas Lubega Waswa omu ku bakitunzi ba NEC Uzima Ltd, agambye nti ne ku mulundi guno basazeewo okulaba nga bawa Bannayuganda amazzi amalungi mu mpaka zino era n’asiima Bukedde ffamire olw’okwagala NEC Uzima Natural mineral water era n’akoowoola abantu okwettanira amazzi ga Uzima amawoomu n’okugasuubula bakole ssente.
Mable Kajja owa Rika Mchuzi mix, agamba nti Rika kanzaali akalimu ekirungo eky’enjawulo ekitalina bulabe ku bulamu bwa muntu yenna ate nga kizitoya enva nezibeera nga nga mpoomu.
Nakinku mu kufumba era omu ku bagenda okubeera abasazi b’empaka Michael Mutale, alambuludde ku bintu ebigobererwa mu mpaka zino n’ategeeza nti tekikoma ku kyakufumba bufumbi biwooma wabula waliwo n’ebintu ebirala ebitunuulirwa mu kusala empaka zino okuli ; obuyonjo, enteekateeka y’ebyokula ku ssowaani n’ebirala.
Samuel Lwanga ssentebe w’abantu abakolera e Mulungu empaka we zaatongolezeddwa yagambye nti buli mwaka empaka zino baba bazirindiridde era n’ategeeza nti nga aba Mulungu nabo balinze olunaku lwabwe we lunatuuka balagewo kye balina bw’atyo n’asiima Bukedde olw’okuzitongoleza ewaabwe.