Amawulire

Omusirikale wa Poliisi eyakubiddwa munne amasasi aziikiddwa mu biwoobe e Lwengo

AMAZIGA ne biwoobe bibuutikidde ekyalo gye baziise omusirikale wa Pollisi eyakubiddwa munne amasasi ku kiro ekyakeseza Mmande. 

Sulaiman Mulika eyakubiddwa amasasi agaamusse
By: Shamim Nabunya, Journalists @New Vision

AMAZIGA ne biwoobe bibuutikidde ekyalo gye baziise omusirikale wa Pollisi eyakubiddwa munne amasasi ku kiro ekyakeseza Mmande.

Sulaiman Mulika 41,nga abadde akolera ku poliisi ye Katwe mu nnamba 7,nga yeyakubiddwa amasasi munne Eriya Musisi bwe babadde bakutte abe bijambiya e Kasenge mu town council ye Kyengera ababadde balumbye amaka g'o mutuuze Florence Naluyima ne bagamenya.

Mulika yaziikiddwa ku kyalo Bijaaba mu muluka gwe Kyazanga mu Lwengo district wakati mu namutikwa we nkuba eyatomye era nga buli omu obweda ayogeera ku Mulika nga abadde omuntu mulamu enyo.
Innocent Mubangizi nga yaddumira poliisi ye Katwe yayogedde nga amaziga nga muyitamu nti Mulika abadde muntu muwulize ate nga ayagala nyo okukola emirimu gya bakamabe gye baba bamuwadde era nga ddibu ddene nyo mu poliisi lya leese.

Aba famire ya Mulika nga bakulembeddwamu Shakirah Mulika  bategeezezza poliisi nti sababa omuddukizzi wa pollisi abonerezze buli musilikale ataayina mpisa mu poliisi ate abasse banabwe bagobye era amateeka gabakoleko.

Mubangizi yalese amabugo okuva ewo mukulu wa pollisi Abas Byakagaba nga bukadde 3,690,000,ziyayambeko mu kuzika era Mubangizi yeyamye okola kyonna ekisoboka okulaba nga omugenzi Mulika famire ye effuna obwe kannya.

Omubaka we kitundu kino Muhammad Ssentayi owe Bukoto west yagumizza aba famire ya mulika abe bakakamu nyo baleke poliisi ekole okunonnyerezza kwayo.

Tags: