Abaawangula akalulu ka Bukedde okugenda e Mecca ne Madinah okulamaga babanguddwa

ABAAWANGULA olugendo lw’okugenda e Mecca ne Madinah okukola Umrah nga bayita mu kuddamu obulungi ebibuuzo ebyabuuzibwanga ku Bukedde Tv  ne Bukedde Leediyo Embuutikizi mu Ramadhan ewedde basomeseddwa ku ngeri gye balina okweyisaamu nga bali mu lugendo luno olutukuvu.

Sheikh Yasin Kiweewa (mu kanzu enzirugavu wakati) nga addiriddwa abawanguzi okuli Faziri Lukungu (mu kanzu enjeru ku kkono) ne Hussein Sajjabi (mu kanzu eya kitaka ku ddyo) n'abalala abetabye mu kuso
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABAAWANGULA olugendo lw’okugenda e Mecca ne Madinah okukola Umrah nga bayita mu kuddamu obulungi ebibuuzo ebyabuuzibwanga ku Bukedde Tv  ne Bukedde Leediyo Embuutikizi mu Ramadhan ewedde basomeseddwa ku ngeri gye balina okweyisaamu nga bali mu lugendo luno olutukuvu.

Abawanguzi ababiri okuli Hussein Ssajjabi omutuuze w'e Kisugu mu Makindye nga  musomesa w’eddiini y’Obusiraamu era omusuubuzi  ne munne Faziri Lukungu omugoba wa Boda Boda era omutuuze w'e Wabigalo –Makindye bagasse ku bannaabwe abalala abagenda okugenda mu lugendo luno.

Ababiri bano nga baasasuliddwa aba Prestige Margerine mu nkolagana yaabwe ne Bukedde baasomeseddwa ku ngeri gye bayina okweyisaamu okwewala okufiirwa empeera zaabwe eziri mu lugendo luno olutukuvu.

Sheikh Kiweewa ku ddyo nga asomesa abamu ku bantu abagenda okukola Umrah.

Sheikh Kiweewa ku ddyo nga asomesa abamu ku bantu abagenda okukola Umrah.

Sheikh Yasin Kiweewa nga y’akulira abeegattira mu kibiina ekitwala abantu ku Hijja ne Umrah ekya Bamuzaata & Others Hijja Tour and Travel nga bano be bagenda okukulemberamu abantu abasoba mu 40 okukola Umrah abakuutidde okufaayo ennyo ku nneeyisa yaabwe.

Ono abadde asisisnkanye abantu ab’enjawulo obagenda okugenda ku Umrah nga bayita mu kibiina kino nga ensisinkano eno ebadde ku Masjid Rashid e Bwaise.

Kiweewa bano abategeezezza nga bwe balina okusooka okutukuza okukkiriza kwabwe era bakakase nti bagenda mu lugendo olutukuvu kibasobozese okufuna obulungi empeera zaalwo.

Abamu ku bakyala abaabadde basomesebwa.

Abamu ku bakyala abaabadde basomesebwa.

Sheikh Yasin  ategeezezza nti ku mulundi guno abafunye omukisa okugenda ku Umrah balina okwekwata obulungi kubanga Allah y’abaagalizza olugendo luno nga kijja kuba kyennyamiza ate olugendo okubafiira obwereere nga bakozeemu ensobi.

Ono abalambise bulungi ku byetaagisa byonna n’ababuulira n’ebintu eby’enjawulo ebirina okukolebwa mu buli kifo kye banaaba batuuseemu nga n’ekisinga obukulu mu lugendo luno kya kutendereza n’okusinza Allah.

Hussein Sajjabi ne Faziri Lukungu nga be bannamukisa abaawangula olugendo luno basiimye nnyo Bukedde ne Prestige Margarine olw’entekateeka eno nebeebaza ne Allah olwa kino ky’abakoledde kyebabadde batasuubira.