Emizannyo gya commonwealth gitongozeddwa

Akakiiko akatwala emizannyo gya Olympics mu ggwanga aka Uganda Olympic committee katongozza enteekateeka z'emizannyo gya Olympics egigenda okubeera mu ggwanga Lya Scotland omwana ogujja.

Abakungu mu kutongoza emizannyo gya Olympics
By Julius Kafuluma
Journalists @New Vision

Akakiiko akatwala emizannyo gya Olympics mu ggwanga aka Uganda Olympic committee katongozza enteekateeka z'emizannyo gya Olympics egigenda okubeera mu ggwanga Lya Scotland omwana ogujja.

Emizannyo gitongozeddwa ku kitebe Kya UOC e Kampala n'okwanjula omumuli gwa Olympics oguyitibwa kings Barton Relay ogugenda okutalaga ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo. 
 
Amyuka omubaka wa Bungereza mu Uganda H.E Tiffany Kirlew yaabadde omugenyi omukulu mu kutongoza empaka zino era nga ono yatenderezza Uganda olwebitone byezze eyolesa mu mpaka za Olympics nga yanokoddeyo omuddusi Joshua cheptegei nga omu ku bannabyamizannyo abatunuuliddwa munsi yonna. 
Abakungu mu kutongoza emizannyo gya olympics

Abakungu mu kutongoza emizannyo gya olympics

 
Moses Mwase amyuka president wa Uganda Olympic committee yayogedde ku mumuli guno nga akabonero kobwasseruganda munsi eziva mu luse olumu ne Bungereza nasuubiza okusindika ekibinja ekyamaanyi mu mpaka zomwaka ogujja bongere okukola ebyafaayo. 
 
Guno gwemumuli ogusoose mu byafaayo okuyitibwa kings relay Barton nga egibaddewo gyonna gibadde giyitibwa Queens Barton olwa nnabakyala wa Bungereza Kati omugenzi.
 
Scotland egenda kutegeka empaka zino omulundi ogwokubiri mu byafaayo nga ogwasooka gwaliwo mu 2014 munnayuganda omuddusi wemisinde Moses Lipitor gyeyateerawo ekyafaayo kwokweddiza omudaali gwa zaabu mu mmita omutwalo gumu.
Olympics zempaka zensi yonna Uganda zekyasinze okuwanguliramu emidaali emingi nga giri 58 omugatte okuli zaabu 19, silver 16 negyekikomo 23.