Omusiguze eyakuba musajja munne n'amuwulubaza olw'omukazi bamukutte n'asaba ekisonyiwo

Jimmy Mubiru, omusuubuzi wa matooke ku Kaleerwe kigambwa nti yaganza Moreen Natukunda mukyala wa Dauda Jjemba 52

Omusiguze eyakuba musajja munne n'amuwulubaza olw'omukazi bamukutte n'asaba ekisonyiwo
By Moses Lemisa
Journalists @New Vision
#Kaleerwe #Bufumbo #Musajja #Musiguze

OMUSIGUZE  eyakuba musajja munne gwe yayagalira omukazi poliisi emukutte ne bamussaako obujulizi ne yeegayirira bamusonyiwe.

Natukunda Eyeegatta N'omusiguze Ne Bakuba Bba.

Natukunda Eyeegatta N'omusiguze Ne Bakuba Bba.

Jimmy Mubiru, omusuubuzi wa matooke ku Kaleerwe kigambwa nti yaganza Moreen Natukunda mukyala wa Dauda Jjemba 52 omutuuze mu Ssebina zzooni e Kawempe ng’akola ogw’okusiimuula ku kizimbe kya Zakaliya mu kibuga nga Jjemba yabasanga lubona.

Jjemba yagambye nti yajja awulira olugambo mu baliraanwa nga Mubiru bw’ayagala mukyala we gw’amaze naye emyaka ebiri teyabifaako okutuusa bwe yabasanga lubona kyokka Mubiru ensonyi n’azifuula obusungu n’amukuba kwagala kumutta oluvannyuma n’adduka.

Mubiru Eyakuba Jjemba Olw'omukazi Ng'ali Ku Poliisi E Kaleerwe.

Mubiru Eyakuba Jjemba Olw'omukazi Ng'ali Ku Poliisi E Kaleerwe.

Mubiru ng’ali ku poliisi yagambye nti Jjemba naye yamukuba ng’ate yali tamusanze mu kikolwa ne Natukunda wabula baali mu bbaala nga banywamu bunywi kuba omukyala mukwano gwe.

Natukunda yagambye nti Jjemba alina ebbuba lingi ng’amulondoola buli w’aba alaze ng’ate talina ky’amuwa nga n’oluusi Mubiru amubeererawo n’amuyamba ng’ate tamwagala.