BAMBEGA bakutte abanene babiri mu magye ku byekuusa ku bbomu eyatulikira e Munyonyo nga June 3, 2025 n’endala egambibwa nti, omukazi ataategeerekese mannya yabadde agyesibye ng’ayagala okugyetulisizaako mu katale k’oku Kaleerwe, ku Ssande, nga June 22, 2025.
Abaakwatiddwa kuliko, akulira ekitongole ekirwanyisa obutujju mu magye ekya Joint Anti-Terrorism (JAT), Col. Peter Ahimbisibwe, n’akulira ebikwekweto mu kitongole kino, Lt. Col. Ephraim Byaruhanga.
Ensonda ku kitebe ky’ebyokwerinda zaategeezezza Bukedde nti, okunoonyereza
kukyagenda mu maaso okuzuula ekituufu.
Kigambibwa nti, ababiri bano baakwatibwa ku Mmande akawungeezi ku biragiro by’omuduumizi wa UPDF.
Kyaddirira amawulire okuyiting’ana nti, baalemererwa okulambika obulungi ku nsonga
za bbomu ebbiri ezoogerwako
okukakasa oba nga tegwali mupango nga baliko bye bayisaawo.
Abattibwa mu bbomu y’e Munyonyo ye Aisha Katushabe eyali amanyiddwa nga Sumaiyah Byaruhanga, Kabonesa ne Farouk Ssebandeke, 31, eyali avuga boda. Amagye oluvannyuma gaasalako akazigo abagenzi we baali bapangisa e Kinaawa mu Town
Council y’e Nsangi, mu disitulikiti y’e Wakiso, gye baazuula bbomu endala.
Ensonda mu UPDF zaategeezezza Bukedde nti, waliwo boofiisa abalala abanoonyerezebwako nga balina okunnyonnyola engeri gye baalondoolamu omukazi eyattibwa mu katale ku Kaleerwe okumala ennaku ssatu kyokka ne balemererwa okumukwata ne bamulinda okutuusa lwe yayingira mu katale olwo ne balyoka bamukuba amasasi agaamuttirawo, kyokka owa bodaboda eyali amuvuga,
n’abaddukako.
Omwogezi w’amagye g’eggwanga, Maj. Gen. Felix Kulayigye yasabye abantu okusigala
nga beegendereza abantu be babeera nabo si kulwa ng’abatujju
babayita ku litalaba ne babatta.
ABABODA BASABYE GAVT. KU BUKUUMI
ABAVUZI ba boda boda abeegattira mu kibiina kya United Boda Boda Riders’ Cooperative Union (UBRCU) batuuzizza lukung’aana ne balaga gavumenti ebintu 4 by’erina okubakwasizaako okugoba obumenyi bw’amateeka mu mulimu gwabwe.
Olukung’aana baalutuuzizza ku Lwokusatu nga bakulembeddwa ssentebe waabwe, Frank Mawejje ne basonga ku bintu ebinaayamba okutereeza omulimu gwabwe, okumalamu abamenyi b’amateeka. Ensonga ze baagala Gavt. ekoleko
mulimu: 1 Gavumenti esseewo enkola ewaliriza buli wa bodaboda okwewandiisa ku mukutu gwabwe ogulaga ebibakwatako n’okulondoola entambula zaabwe ogwa ‘Union
App’.
2 Okussaawo siteegi ezimanyiddwa mu mateeka nga buli wa boda alina siteegi w’akolera awamanyiddwa.
3 Okuweebwa obuuma obukebera emigugu gy’abasaabaze. 4 Okuyambako abavuzi ba boda okufuna yunifoomu ezibaawula ku bamenyi b’amateeka ababeerimbikamu. Yagasseeko nti, omukutu gwabwe ogwa ‘Union App’ guyinza okweyambisibwa gavumenti okuzuula abamenyi b’amateeka ssinga buli avuga bodaboda abeera agweyunzeeko