Abasuubuzi mu katale ka Kizito basattira, nnyiniko azimbako kalina

 ABASUUBUZI ababadde bakolera mu katale ka Kizito akaakwata omuliro mu November, 2024 bsobeddwa olwa nnannyini ttaka okuzimbako kalina nga ne poliisiy’oku Kaleerwe nayo erugenderamu.

Ekizimbe ekizimbibwa mu katale ka Kizito.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

 ABASUUBUZI ababadde bakolera mu katale ka Kizito akaakwata omuliro mu November, 2024 bsobeddwa olwa nnannyini ttaka okuzimbako kalina nga ne poliisi
y’oku Kaleerwe nayo erugenderamu.
Akatale ka Kizito kasangibwa mu Sebina zooni mu muluka gwaakerere III e Kawempe nga ka Deborah Namutebi, maama w’omugenzi Majid Musisi eyali  omusambi w’omupiira. Akatale  kabbulwamu kitaawe, omugenzi Stanley Kizito eyakaggulawo mu
1983.
Wabula akatale kazze kakwata omuliro enfunda eziwerako nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okukookya ng’omuliro ogusembyeyo gwakwata mu kiro kya December 6 omwaka oguwedde.
Gwakwata emidaala gy’ennyama, omuzikiti abasuubuzi abaali bagugulana ne Namutebi we baali bakolera.
Muky. Namutebi yagambye talina musuubuzi gwe yagobye ng’era ba ddembe okwekwata amaduuka. Ku nsonga ya poliisi y’oku Kaleerwe, yagambye nti si ye yabaateeka ku ttaka lye ng’era w’eri agenda kuzimbawo nawo kuba abadde
tasasulwa ebbanga lyonna ly’emazeewo ng’ate buli kimu babadde bakozesa kya bwereere. Yasiimye olupapula lwa Bukedde,  Bukedde FM olw’okulemera ku
nsonga nga bazze bafulumya obutakkaanya bwe yalina n’abasuubuzi bano ensi n’eraba ani mutuufu Bye boogera Mariam Nabulo: Kaleerwe genda kuba wa mulembe mu
myaka 5 kuba abagagga abasinga bagenze basitula ebizimbe y’omulembe lwakuba
omuntu wa wansi tasobol ssente za kubipangisaako.
Aisha Namyalo: Tukuze tulaba bibaawo mu katale ka Kizito. Namutebi bw’aba asazeewo okussaawo enkulaakulana kirungi yadde abamu banyigiriziddwa bagume Kaleerwe agenda kwongera okukyuka mu ndabika.
Steven Buyondo: Enkulaakulana eri mu Kaleerwe egenda kumalawo enfo
z’abakyamu wabula tusaba abakulaakulanya ebifo baleme kupaaza nnyo ssente za bupangisa. okutuusa lwe yabawangula. Ku nsonga y’abasuubuzi (Abasiraamu)  abaali bagugulana ne Namutebi, yagambye nti omugenzi Kizito bakadde baabwe bwe baasasulanga ssente z’obupangisa yabawanga lisiiti ez’okukolera ku ttaka bano we baasinziiranga okulemerako  nti baagula ekitali kituufu.  Wabula abamu ku basuubuzi abaali bagugulana ne Namutebi okuli Abdu Lubwama ne Musa Bbosa gye buvuddeko  aategeeza nti tebaafuna bwenkanya ng’okusalawo Haji Njuki Mbabali omubaka wa
pulezidenti e Kawempe tekwali mu mateeka. Haji Njuki yategeezza Bukedde nti yatuuza enjuyi zombi wabula ne kizuulwa ng’oludda lw’abasuubuzi terulina kiwandiiko kyonna kiraga nti ebifo we bakolera baabigula