Ab’e Kawempe basattira olw’obubinja obutuusa obulabe ku bantu n’okubanyaga

Ab’e Kawempe basattira olw’obubinja obutuusa obulabe ku bantu n’okubanyaga

Abatuuze nga banywezezza Robert Ssekate eyabbye essimu ate n’atoloka ku poliisi era wano nga bamuzzaayo.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE mu munisipaali y’e  Kawempe bali mu bweraliikirivu olw’obubinja bw’abamenyi  b’amateeka obususse okubatuusaako  obulabe omuli okubakuba  n’okubanyagulula.
Obubinja buno bulina enfo  ez’enjawulo mu miruka gy’e Kawempe mwe businziira okuteesa gye bugenda okunyagulula ng’abakulembeze omusango baguteeka
ku bazadde n’ebitongole ebikuuma ddembe bye bagamba nti tebakoze kimala okubumalawo.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti poliisi egenda mu maaso n’okufuuza abakyamu ng’abatuuze balina okukolagana n’abaserikale  abatwala poliisi z’omu bitundu byabwe okulonkoma abakyamu bakwatibwe.
Fred Muwanguzi omutuuze w’e Mulago yagambye nti buli lunaku  wabaawo abantu be bateega ne babakuba ku kkubo lya Limbo e Mulago, Mawanda Road, Binaisa, Bombo n’endala. Yagasseeko nti ekisinga okwewuunyisa abamu ku bavubuka bano babonga n’abaserikale ekyongedde okumalamu abantu amaanyi ng’abamu bwe bafuna obuzibu
batya n’okuloopa emisango kuba bwe bakwatibwa bayimbulwa.
Abavubuka bano batambulira mu bibinja ne bataayiza  abantu mu bifo eby’enjawulo nga
bwe batakusanga na kintu kye bakubbako bakukuba bakugamba okukomya okutambulirawo nga tolinaamu yadde ennusu bano babeera n’ebissi.
ABAMU KU BAZZE BATUUSIBWAKO OBULABE BOOGEDDE
Brown Kairara 23 omutuuze w’omu Ssebina zzooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe omu ku baalozezza ku bukambwe bw’abavubuka bano baamutaayizza ne bamukuba ne bamukulula ku ttaka.
Kairara yagenze ku poliisi y’oku Kaleerwe n’aggulawo omusango ng’abaserikale
batandise omuyiggo.
Kairara yagambye nti alina akabaga ke yabaddeko mu kudda awaka ku ssaawa
11:00 ez’olweggulo we yasangidde abavubuka basatu ne bamutaayiza ng’abantu
balaba ne bamusaba abawe buli ky’alina nga talina yadde essimu ne bamukkakkanako ne bamukuba n’okumukulula mu ttaka ng’abatuuze be bamutaasizzam abavubuka ne badduka.
Ronald Ssebwami ow’omu Ssebina zooni omu ku baakubiddwa yasobodde okwetegerezaako omu ayitibwa Samuel Ankwasa eyak-watiddwa poliisi y’oku Kaleerwe nga kigambibwa yakubye Ssebwami peeva ku mutwe. Ssebwami yagambye yabadden adda awaka ekiro yawulidde kintu kimukuba ku liiso ebyazzeeko yabitegedde luvannyuma ng’ali mu ddwaaliro