MU kitundu kyaffe ekyokubiri eky’emboozi ku bwenzi obukudde ejjembe mu basuubuzi abakolera mu akeedi z’omu Kampala, tukuleetedde abantu mu biti ebyenjawulo abasinga okufuna mu mbeera eno.
Okunoonyereza Bukedde kw’akoze kulaga engeri abagagga bannannyini bizimbe bwe
baasoma amangu embeera ne bakyusakyusa ebizimbe byabwe. Emyaliiro egya waggulu edda ezaabanga sitoowa, baaziyooyoota ne bassaako loogi eziyingirwamu buli ‘kiraasi’ era bannannyini bizimbe ssente ze bayoola mu loogi zivuganya n’eziva mu maduuka.
Abalala abafuna ekiralu mu mbeera eno ey’obwenzi mu akeedi be bantu abali mu
bizinensi ey’okutunda ‘eddagala’ ery’okumalako mu basajja n’ery’abakyala naddala okufuna obwagazi, era n’okusanyusa basajja baabwe mu mukwano.
Aba bodaboda nabo nabo bafunyeemu nnyo mu mbeera eno kubanga batambuza abenzi mu biseera naddala eby’ekiro nga babayisa mu jjaamu basobole okutuuka awaka amangu era aba bodaboda abo basirikidde ebyama by’abasuubuzi bangi abali mu
bwenzi.
ENGERI ABAGAGGA GYE BAYOOLA SSENTE
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abatandisi b’emirimu n’abakolera mu akeedi ekya United Arcaders, Traders, Enterprenuers Association (UATEA) Edward Ntale, yannyonnyodde engeri abagagga gye bayoola omusimbi mu bwenzi obukolebwa abasuubuzi. Oluvannyuma lw’ebyenfuna okudobonkana olw’omuggalo ogwaleetebwa Covid-19, abasuubuzi abaali batereka ebyamaguzi mu masitoowa agali ku myaliiro egya waggulu ku bizimbe embeera yabayitamu olwa kapito okukendeera emmaali ne batandika
okugitereka mu maka gaabwe.
Embeera eno yaleetera bannannyini bizimbe okwebuuza kye balina okukolera amaduuka gano era bangi baalaba nga bizinensi gye bayinza okukolera amaduuka gano ya kugatemamu busenge ne bakola loogi, ate abalala ne bazifuula wooteeri.
Ennaku zino kizibu omugagga okuzimba akeedi mu Kampala n’atateekako loogi kuba zettanirwa emisana n’ekiro. Akasenge akamu kasobola okukozesebwa abantu abatakka wansi wa bataano olunaku. Obusenge buno busasulwa okuva ku 20,000/-
. Kino kitegeeza nti olunaku akasenge kayinza okukukolera 100,000/-. Ekisenge ekikola nga sitoowa kisobola okutemwamu obusenge bubiri, olwo sitoowa gye yandibadde apangisa 500,000/- omwezi, n’aggyamu ssente eziri eyo mu bukadde 4 omwezi. Ate abagagga abamu loogi zino bazipangisa abantu abalala ne baziddukanya olwo bo ne bafuna ssente zaabwe awatali kusaasaanya, wadde okuteekamu amaanyi.
Ye amyuka ssentebe w’ekibiina omwegattira abasuubuzi abakolera mu akeedi z’omu kampala ekya KAAFO, Ibrahim Mboowa agamba nti ekyewuunyisa abakazi bangi abasajja be bakola nabo obwenzi tebabateekamu ssente abasinga bakoma ku kya
kubawa ssanyu lya mu kitanda. Baabano Abagagga ze bafuna zivuganya ez’amaduuka
ABANTU abalala abafuna mu bizinensi y’obwenzi be batunda eddagala ly’amaanyi g’ekisajja n’erisumulula ttapu z’abakazi.
Kemico Lubega, atunda ebirungo ebyenjawulo ebyettanirwa ennyo abaagalana mu Kampala yategeezezza nti eddagala lye lisinga kwettanirwa abakazi abafumbo,
bannakyeyombekedde n’abawala abato abanoonya obufumbo ssaako abasajja abaagala
okwongera ku maanyi.
Agamba nti omuli guno yaguyigira ku ssenga we omugenzi Hanifah Namatovu eyamutumanga eddagala ery’enjawulo mu Owino era bwe yalaba engeri gye yali agufunamu, yawalirizibwa naye okugufuula omulimu.
Lubega yanyonnyodde nti eddagala lino lya butonde kyokka mu nnaku ez’ebikujjuko ne
wiikendi era okuva ku Lwokuna okutuuka ku Lwokutaano, bakasitoma tebava ku ssimu ye.
Kyokka ono agamba nti olw’okuba abantu abakola obwenzi abamu babeera bafumbo,
eddagala balituma ba bodaboda ssaako mikwano gyabwe.
EDDAGALA LY’ABAKYALA LITAMBULA
Lubega agamba nti eddagala ly’abakyala naddala ery’amazzi, ly’atunda ery’ensaano lyettanirwa nnyo kubanga buli omu aba ayagala amatize omusajja omupya gw’aba afunye nti y’asinga mu nsonga eyo.
Agamba nti lino mu ddakiika 30 ng’olikozesezza, ttaapu ziba zitandise okusumulukuka era ab’amaddu amangi batobya n’engoye nga tebannatuuka mu kitanda.
Akalagala akalala abakyala ke bettanira kayitibwa ‘kabba mutima’. Kano kabeera kazigo abakazi ke basiiga ku mimwa gyabwe nga kano mbu omusajja bw’akanuunako ayinza obutajjulira kudda waka.
‘Mwambala’ nako kazigo nga kano abakazi bakakozesa okukasiiga abasajja mu kifuba nga bawujjaddeko. Mbu nako kakola kinene mu kubasumulula ne baddamu okuwanga ne basobola okumalamu obulungi akagoba.
Ebika ebirala ebyettanirwa kuliko ‘Kamiima’. Lino likozesebwa mu kufunza abakyala
nga lyettanirwa nnyo abawala abato abaagala okulowoozesa abasajja nti bakyali mbeerera basobole okubatengula. Agamba nti bw’agattako akaleeta amazzi, kiyiririra.
Ng’oggyeeko omulondo ogumanyiddwa, Lubega agamba nti alina ak’abasajja ke bayita
‘Maanyi ga njegere’. Kano ka kunywa.
Abalala abafuna mu bwenzi be ba bodaboda abatambuza eddagala lino n’abasimba ku loogi okuvuga bak’abasajja okubazza eka abaami baleme kubasookayo.
Lubega agamba nti abakazi bano emirundi egisinga tebaganya ba boda bano kubatuusa waka era bwe batuuka awali obuduuka nga beefuula abalina bye baagala
okugula olw’okutya nti bayinza okubakolako olugambo.