EMBEERA y’ebyenfuna eyeekanamye etakuza buli omu omutwe, okunoonya akawogo
asobole okubaawo. Ono taata w’abaana yalabye buli kimu kikalubye ate nga n’emirimu
egivaamu ensimbi gya bbula, kwe kuyiiya okukola saakaasi asobole okufuna amata g’abaana.
Yasangiddwa mu bitundu by’e Bwaise erudda n’erudda ng’akatambulirako mu ngeri
y’okwetengerera.
Bakira bamusasula ssente ezitakka wansi wa 5,000/- olwo n’alyoka akasiba n’akatambulirako.
Wabula abassaawo ssente bakirabasooka kumulaalika nti ssinga kamulema okutambulirako
n’agwa olwo nga ssente zaabwe bazeddiza! Ekirungi yakatambukiddeko
n’amalako wakati mu kumukubira enduulu n’emizira