OMUYIMBI Lord Fred Sebatta, ennyonyi emusubye. Yabadde alina okuyimba ku kivvulu ekimu e Bungereza wabula ne yeerabira okugenda okukola yintaviyu y’okufuna viza.
Waliwo ababitebya mbu omukulu yeebaka nnyo ku lunaku lwa yintaviyu ate mbu n’eyalina okumutwala ku kitebe kya Bungereza teyamukima.
Wadde guli gutyo, pulomoota eyali amutwala agamba omukisa gukyaliwo. Mbu waakumutwala omwezi ogujja kuba yali yeeyama okumulinnyisa ku nnyonyi.