ABASERIKALE abakuuma Kabaka okuli; David Kafeero ne Eva Namutebi beekubye embaga.
David Ne Eva Bwe Bafaanana
Bano baayingira eggye erikuuma Kabaka mu 2013 kyokka mu by'okukuuma Beene mwe beekubira oluuso okukkakkana nga baagalanye mu 2016.
Nga June 27, 2025 bano baakubye ebirayiro mu maaso g'omuwandiisi w'obufumbo mu NIRA, Naome Katushabe