WINFRED Nakanwagi amanyiddwa nga Winnie Nwagi, ye n’okukuba abawagizi empi ne tteke baafuuka balongo. Bwe yabadde e Ntungamo ku ekivvulu ekimu, yakubye omuwagizi empi ne tteke.
Abasinga nga tebannamunenya, basoose kwebuuza obukugu bwe yakozesezza n’ekika kya ffirimu ky’alaba ennaku zino ekimuwa obukugu mu kukasuka ensambaggere.
Ate abamu ne basaasira omuwagizi eyakubiddwa nti oba kati ali mu embeera ki anti n’oluuyi lwe yamupaccizza, lwabadde lwa maanyi.
Nwagi azze akuba abawagizi abasiiwuuka empisa nga bamukwata obutambi era akyenyumirizaamu nti si waakuzikiza okutuusa nga bakikomezza.